Awo ababaka ne bakomawo ne boogera nti Bw'atyo bw'ayogera Benikadadi nti Okutuma nakutumira nga njogera nti Oliwaayo gye ndi effeeza yo n'ezaabu yo ne bakazi bo n'abaana bo;
naye ndikutumira abaddu bange enkya bwe buliba nga kampegaano, kale balikebera ennyumba yo n'ennyumba z'abaddu bo; awo olulituuka kyonna kyonna ekisanyusa amaaso go balikiteeka mu mukono gwabwe ne bakitwala.
Kyeyava agamba ababaka ba Benikadadi nti Gamba mukama wange kabaka nti Byonna bye wasookerako okutumira omuddu wo ndibikola: naye kino siyinza kukikola. Ababaka ne bagenda ne bamuddiza ebigambo.
Awo olwatuuka Benikadadi bwe yawulira ekigambo ekyo, bwe yali ng'anywera, ye ne bakabaka abo, mu weema, n'agamba abaddu be nti Musimbe ennyiriri. Ne basimba ennyiriri okulwana n’ekibuga.
Kale, laba, nnabbi n'asemberera Akabu kabaka wa Isiraeri, n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olabye ekibiina kino kyonna ekinene? laba, naakigabula mu mukono gwo leero; naawe onoomanya nga nze Mukama.
Akabu n'ayogera nti Eri ani? N'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Eri abalenzi ab'abakulu b'amasaza. Awo n'ayogera nti Ani anaasooka okulwana? N'addamu nti Ggwe.
Awo n'ayolesa abalenzi ab'abakulu b'amasaza, ne baba ebikumi bibiri mu asatu mu babiri: awo oluvannyuma lwabwe n'ayolesa abantu bonna, abaana ba Isiraeri bonna, ke kasanvu.
Awo ne batabaala mu ttuntu. Naye Benikadadi yali ng'ali mu weema ng'anywa omwenge ng'atamiira, ye ne bakabaka, bakabaka amakumi asatu mu babiri abaamubeera.
Awo abaddu ba kabaka w'e Busuuli ne bamugamba nti Katonda waabwe katonda wa ku nsozi; kyebaava batusinga amaanyi: naye tulwanire nabo mu lusenyi, kale tetulirema kubasinga bo amaanyi.
era weebalire eggye erifaanana eggye lye wafiirwa, embalaasi okudda mu kifo ky'embalaasi, n'eggaali okudda mu kifo ky'eggaali: kale tulirwanira nabo mu lusenyi, era tetulirema kubasinga amaanyi. Awo n'awulira eddoboozi lyabwe n'akola bw'atyo.
Awo abaana ba Isiraeri ne bayolesebwa ne baweebwa entanda yaabwe, ne babatabaala: awo abaana ba Isiraeri ne basiisira okuboolekera nga bafaanana ebisibo bibiri ebitono eby'abaana b'embuzi: naye Abasuuli ne babuna ensi.
Awo omusajja wa Katonda n'asembera n'agamba kabaka wa Isiraeri n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga Abasuuli boogedde nti Mukama katonda wa ku nsozi, naye si katonda wa mu biwonvu; kyendiva ngabula mu mukono gwo ekibiina kino kyonna ekinene, nammwe mulimanya nga nze Mukama.
Awo ne basiisira nga basulaganako ne bamala ennaku musanvu. Awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu ne balumbagana; abaana ba Isiraeri ne batta ku Basuuli abasajja abatambula n'ebigere kasiriivu ku lunaku lumu.
Naye abalala ne baddukira e Afeki mu kibuga; awo bbugwe n'agwa ku basajja obukumi bubiri mu kasanvu abaasigalawo. Ne Benikadadi n'adduka n'atuuka mu kibuga mu kisenge eky'omunda.
Abaddu be ne bamugamba nti Laba nno, tuwulidde nga bakabaka b'ennyumba ya Isiraeri bakabaka ba kisa: tukwegayiridde, twambale ebibukutu mu biwato n'emigwa ku mitwe gyaffe, tufulume eri kabaka wa Isiraeri: mpozzi anaawonya obulamu bwo.
Awo ne beesiba ebibukutu mu biwato ne batikkira emigwa ku mitwe, ne bajja eri kabaka wa Isiraeri, ne boogera nti Omuddu wo Benikadadi ayogera nti Nkwegayiridde, mbeere omulamu. N'ayogera nti Akyali mulamu? ye muganda wange.
Awo abasajja ne balabirira nnyo ne banguwa okwetegereza oba nga bw'ayagala bw'atyo; ne boogera nti Muganda wo Benikadadi. Awo n'ayogera nti Mugende mumuleete. Awo Benikadadi n'afuluma n'ajja gy'ali; n'amulinnyisa mu ggaali.
Awo kabaka bwe yali ayitawo, n'akaabirira kabaka: n'ayogera nti Omuddu wo yafuluma wakati mu lutalo; kale, laba, omusajja n'akyama n'andeetera omusajja n'ayogera nti Kuuma omusajja ono: okubula bw'aliba ng'abuze, kale obulamu bwo buliba mu kifo ky'obulamu bwe, oba oliriwa talanta ey'effeeza.
N'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga wata omusajja ow'ekiwe gye ndi okuva mu mukono gwo, obulamu bwo kyebuliva bubeera mu kifo ky'obulamu bwe, n'abantu bo baliba mu kifo ky'abantu be.