BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Solomoni ye yafuganga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga okutuuka ku nsi y'Abafilisitiini, n'okutuuka ku nsalo za Misiri. Baamuwanga omusolo, era baamuweerezanga ennaku zonna ez'obulamu bwe. |
| 2 |
| Emmere ya Solomoni buli lunaku: kori amakumi asatu ez'obuwunga obukuŋŋunte, kori nkaaga ez'obuwunga bw'eŋŋano; |
| 3 |
| ente kkumi ensavuwaze, n'ente amakumi asatu ennundire ku ttale, endiga n'embuzi kikumi, nga tobaze ngabi, nnangaazi n'ensowe, ko n'enkoko ensavuwaze. |
| 4 |
| Anti yennyini yatwalanga ekitundu kyonna ekiri emitala w'eri ew'Omugga okuva e Tifusa okutuuka e Gaza, ne bakabaka bonna ab'emitala w'Omugga; yalina emirembe ku njuyi zonna. |
| 5 |
| Mu budde bwa Solomoni bwonna Yuda ne Yisirayeli, okuva ku Daani okutuuka e Beriseba, baalinga beetuulidde ntende awatali kutya kwonna, buli omu wansi w'omuzabbibu gwe, n'omukunyu gwe. |
| 6 |
| Solomoni yalina ebisibo enkumi nnya eby'embalaasi ez'ebigaali, n'abeebagazi omutwalo gumu mu enkumi bbiri. |
| 7 |
| Abaamasaza bano buli mwezi baaleeteranga Solomoni kabaka emmere n'abo be yalyanga nabo; tewali kye baalekangayo. |
| 8 |
| Baaleetanga mu bifo ebipimo by'eŋŋano n'essubi olw'embalaasi ng'etteeka bwe lyali ku buli omu. |
| 9 |
| Katonda yawa Solomoni amagezi, okutegeera ennyo, n'omutima omugazi obulala okwenkana obungi bw'omusenyu ku lubalama lw'ennyanja. |
| 10 |
| Amagezi ga Solomoni gaasoolooba ku magezi g'abantu bonna ab'ebuvanjuba ne ku magezi g'omu Misiri. |
| 11 |
| Yali mugezi okusinga abantu bonna; yali asinga ne Etani Omwezira ne Emani, Kalukoli ne Daruda batabani ba Makooli. Erinnya lye ne limanyika mu mawanga gonna ageetooloddewo. |
| 12 |
| Solomoni yafumba engero enkumi ssatu; ennyimba ze zaali lukumi mu ttaano. |
| 13 |
| Yayogera ku bifa ku miti, okuva ku ntolookyo z'omu Lebanoni okutuuka ku yissopo amera ku bisenge; n'attottola ebifa ku nsolo, ku binyonyi, ku byewalula, ne ku byennyanja. |
| 14 |
| Abantu baavanga mu mawanga gonna ne bajja okuwulira amagezi ga Solomoni; baavanga ewa bakabaka bonna ab'ensi abaali bawulidde ku magezi ge. |
| 15 |
| Ne Kiramu, kabaka w'e Tiiro bwe yawulira nti Solomoni bamusiize abeere kabaka okusikira kitaawe, n'atuma abaweereza be ewa Solomoni, kubanga Kiramu yali mukwano gwa Dawudi obudde bwonna. |
| 16 |
| Ne Solomoni n'aweereza obubaka ewa Kiramu, n'agamba nti: |
| 17 |
| “Omanyi nti kitange Dawudi teyasobola kuzimbira linnya lya Mukama Katonda we kiggwa olw'entalo ezaali zimwetoolodde, okutuusa Omukama lwe yassa abalabe be wansi w'ebigere bye. |
| 18 |
| Kale nno Omukama Katonda wange ampadde emirembe ku njuyi zonna, mpaawo mulabe oba ekiguddewo kyonna. |
| 19 |
| Kale nno ndowooza eky'okuzimbira erinnya ly'Omukama Katonda wange ekiggwa, ng'Omukama bwe yagamba Dawudi Kitange nti: ‘Omwana wo gwe ndikusikiza ku nnamulondo yo, y'alizimbira erinnya lyange ekiggwa.’ |
| 20 |
| Lagira nno bantemere entolookyo z'omu Lebanoni, abaweereza bange banaakola n'abaweereza bo; nnaakuwa empeera y'abaweereza bo bonna gy'onooba osabye. Naawe omanyi nga mu bantu bange temuli musajja amanyi kutema miti ng'Abasidoni.” |
| 21 |
| Kiramu bwe yawulira ebigambo bya Solomoni, n'asanyuka nnyo, n'agamba nti: “Omukama agulumizibwe olwa leero eyawa Dawudi omwana omugezi afuge eggwanga lye eddene.” |
| 22 |
| Awo Kiramu n'atuma ewa Solomoni, n'agamba nti: “Obubaka bwo bw'ompeerezza mbufunye. Nzija kukola kyonna ky'oyagala ku by'emiti gy'entolookyo ne sipulaasi. |
| 23 |
| Basajja bange bajja kugisika okugiggya ku Lebanoni bagireete ku nnyanja; ate nze nzija kugikolamu ekibaya ngiseeyeeyeze ku nnyanja, ngigobye ku kifo ky'onooba ombuulidde, ngigombolole, ogiggyewo. Ate ggwe ononkolera kye njagala ng'ompa ebyokuliisa amaka gange.” |
| 24 |
| Bwe kityo Kiramu n'awanga Solomoni endoddo z'entolookyo ne sipulaasi nga bwe yayagalanga, |
| 25 |
| ye Solomoni ng'awa Kiramu kori emitwalo ebiri ez'eŋŋano okuliisa amaka ge, ne kori emitwalo ebiri ez'omuzigo omukamule; ebyo Solomoni yabiwanga Kiramu buli mwaka. |
| 26 |
| Omukama era yawa Solomoni amagezi nga bwe yamugamba. Kiramu ne Solomoni ne bakolagananga bulungi, era bombi ne bakola endagaano. |
| 27 |
| Kabaka Solomoni n'alonda abakozi b'akasanvu mu Yisirayeli wonna, abasajja emitwalo esatu. |
| 28 |
| Yabasindikanga mu mpalo, omutwalo gumu gumu buli mwezi, nga bamala omwezi gumu mu Lebanoni ate emirala ebiri ne bagimala awaka. Adoniramu ye yakuliranga akasanvu ako. |
| 29 |
| Solomoni yalinanga abeetissi emitwalo musanvu, n'abakomozi b'amayinja mu nsozi emitwalo munaana, |
| 30 |
| nga tobaze bannampala enkumi ssatu mu bisatu abaali bateereddwa Solomoni ku mulimu, abaakuliranga abakozi ku mulimu. |
| 31 |
| Kabaka n'alagira ne baasa agayinja aganene ag'omuwendo olw'okubanga omusingi gw'Ekiggwa, ne bagabajja. |
| 32 |
| Baffundi ba Solomoni n'abazimbi ba Kiramu ne Gebali ne batema emiti ne babajja n'amayinja, ne bateekateeka okuzimba Ekiggwa. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/1kings/005.mp3
22
5