Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Awo Sulemaani bwe yamala okuzimba yeekaalu ya Mukama n’olubiri lwe, n’okuzimba ebyo byonna bye yasiima, |
| 2 |
| Mukama n’amulabikira omulundi ogwokubiri, nga bwe yamulabikira e Gibyoni. |
| 3 |
| Mukama n’amugamba nti, “Mpulidde okusaba n’okwegayirira kw’owaddeyo gye ndi; ntukuzizza yeekaalu eno gy’ozimbye, n’erinnya lyange, emirembe gyonna. Amaaso gange n’omutima gwange binaabeeranga omwo. |
| 4 |
| “Naawe bw’onootambuliranga mu maaso gange n’omutima ogw’amazima n’obugolokofu, nga Dawudi kitaawo bwe yakola, era n’okolanga bye nkulagira byonna, n’okwatanga amateeka gange, |
| 5 |
| nnaanyweza entebe yo ey’obwakabaka mu Isirayiri emirembe gyonna, nga bwe nasuubiza Dawudi kitaawo bwe n’ayogera nti, ‘Tolirema kuba na musajja ow’omu lulyo lwo anaatuulanga ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri.’ |
| 6 |
| “Naye ggwe oba batabani bo bwe munanjeemeranga ne mutakwatanga biragiro byange n’amateeka ge mbawadde, ne mutanula okuweereza bakatonda abalala, |
| 7 |
| kale ndiggya ku Isirayiri ensi gye mbawadde era ne yeekaalu gye ntukuzizza n’erinnya lyange ndigireka. Olwo Isirayiri erifuuka eky’okunyoomoolwa n’ekyokusekererwa mu mawanga gonna. |
| 8 |
| Newaakubadde nga yeekaalu eno eyatiikirira kaakano, buli anaayitangawo aneewunyanga n’aŋŋoola ng’agamba nti, ‘Kiki ekireetedde Mukama okukola ekintu bwe kiti ku nsi eno ne ku yeekaalu eno?’ |
| 9 |
| Abantu baliddamu nti, ‘Kubanga baava ku Mukama Katonda waabwe, eyaggya bajjajjaabwe mu Misiri, ne basembeza bakatonda abalala, n’okubasinza ne babasinza era n’okubaweereza ne babaweereza. Mukama kyavudde ababonereza mu ngeri eyo.’ ” |
| 10 |
| Ku nkomerero y’emyaka amakumi abiri, mu kiseera Sulemaani mwe yazimbira ebizimbe byombi, eyeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwe olw’obwakabaka, |
| 11 |
| Kabaka Sulemaani yagabira Kiramu kabaka w’e Ttuulo ebibuga amakumi abiri, olw’emivule, n’emiberosi ne zaabu bye yaweereza Sulemaani. |
| 12 |
| Naye Kiramu bwe yava e Ttuulo n’agenda okulambula ebibuga Sulemaani bye yamugabira, ne bitamusanyusa. |
| 13 |
| N’amubuuza nti, “Bino bibuga bya ngeri ki by’ompadde muganda wange?” N’abituuma erinnya Kabuli, era bwe biyitibwa n’okutuusa olunaku lwa leero. |
| 14 |
| Kiramu yali aweerezza kabaka ttani nnya eza zaabu. |
| 15 |
| Kabaka Sulemaani mu buyinza bwe n’amaanyi ge, yakuŋŋaanya abasajja ab’amaanyi bangi okuzimba yeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwe, n’obusenge obuwagika bbugwe wa Yerusaalemi, n’ebibuga ebya Kazoli, ne Megiddo ne Gezeri. |
| 16 |
| Falaawo, ye kabaka w’e Misiri yali atabadde, n’okuwamba n’awamba Gezeri, n’akireka ng’akikumyeko omuliro, ng’asse Abakanani abaakibeerangamu. Ekifo ekyo n’akigabira muwala we, muka Sulemaani ng’ekirabo ku mbaga yaabwe. |
| 17 |
| Awo Sulemaani n’akizimba buggya; n’azimba ne Besukolooni ekya wansi, |
| 18 |
| Baalasi ne Tamali mu ddungu, |
| 19 |
| n’ebibuga eby’amawanika, n’omwakuumirwanga amagaali, n’abeebagala embalaasi ze, ne byonna bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi, ne mu Lebanooni ne mu bitundu byonna bye yafuganga. |
| 20 |
| Abantu bonna abaasigalawo ku Bamoli, n’Abakiiti, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi, abataali Bayisirayiri, |
| 21 |
| Abayisirayiri be bataayinza kuzikiririza ddala, Sulemaani n’abafuula baddu, n’okutuusa leero. |
| 22 |
| Naye teyafuula Muyisirayiri n’omu muddu, wabula bo baali nga balwanyi be, na bakungu be, na baami be, na baduumizi b’amagaali na beebagazi ba mbalaasi ze. |
| 23 |
| Era be baali nga abakungu abaavunaanyizibwanga emirimu gye gyonna, era abo bonna abaavunaanyizibwanga emirimu egyo, awamu nga bawera abakungu ebikumi bitaano mu ataano. |
| 24 |
| Awo muwala wa Falaawo bwe yava mu kibuga kya Dawudi n’agenda mu lubiri Sulemaani lwe yamuzimbira, Sulemaani n’azimba obusenge obuwagika bbugwe. |
| 25 |
| Sulemaani yawangayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emirembe ku kyoto kye yazimbira Mukama, emirundi esatu mu mwaka, ng’ayotereza obubaane mu maaso ga Mukama, ng’atuukiriza obulombolombo bwa yeekaalu. |
| 26 |
| Kabaka Sulemaani yazimba n’ebyombo mu Eziyonigeba okuliraana Erosi mu Edomu, ku lubalama lw’ennyanja Emyufu. |
| 27 |
| Kiramu n’aweereza abasajja be abalunnyanja okukoleranga awamu n’aba Sulemaani. |
| 28 |
| Ne baseeyeeya okutuuka mu Ofiri, ne baleeta ttani kkumi na nnya eza zaabu eri Sulemaani. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/1kings/009.mp3
22
9