Awo Akabu yalina batabani be nsanvu mu Samaliya. Yeeku n'awandiika ebbaluwa n'atumira Samaliya eri abakulu b’e Yezuleeri, be bakadde, n'eri abo abaalera batabani ba Akabu ng'ayogera nti
Kale nno ebbaluwa eno nga kyejje etuuke gye muli, kubanga abaana ba mukama wammwe bali nammwe, era mulina amagaali n'e mbalaasi, era n'ekibuga ekiriko enkomera n'ebyokulwanyisa;
Awo omukulu w'abo mu nnyumba n'omukulu w'ekibuga, era n'abakadde n'abo abaalera abaana, ne batumira Yeeku nga boogera nti Tuli baddu bo, era tunaakola byonna by'onootulagira: tetujja kufuula muntu yenna kabaka: okolanga ekinaaba ekirungi mu maaso go.
Awo n'abawandiikira ebbaluwa omulundi ogw'okubiri ng'ayogera nti Oba nga muli ku lwange ne mukkiriza okuwulira eddoboozi lyange, mutwale emitwe gy'abasajja batabani ba mukama wammwe, mujje gye ndi e Yezuleeri enkya bwe buliba nga kampegaano. Awo batabani ba kabaka abantu nsanvu baali n'abakulu b'ekibuga abaabalera.
Awo olwatuuka ebbaluwa bwe yatuuka gye baali, ne batwala batabani ba kabaka ne babatta, abantu nsanvu, ne bateeka emitwe gyabwe mu bisero, ne bagimuweereza e Yezuleeri.
Mutegeere nno nga ku kigambo kya Mukama tekuligwa wansi na kimu Mukama kye yayogera ku nnyumba ya Akabu: kubanga Mukama akoze ekyo kye yayogerera mu muddu we Eriya.
Bw'atyo Yeeku n'akuba n'abo abaasigala ku nnyumba ya Akabu mu Yezuleeri n'abakulu be bonna, ne baganzi be ne bakabona be okutuusa lw'ataamulekerawo n'omu eyasigala.
Yeeku n'asanga baganda ba Akaziya kabaka wa Yuda, n'ayogera nti Mmwe muli b'ani? Ne bamuddamu nti Tuli baganda ba Akaziya: era tuserengeta okulamusa abaana ba kabaka n'abaana ba nnamasole.
N'ayogera nti Mubakwate nga balamu. Ne babakwata nga balamu, ne babattira ku bunnya obw'ennyumba ey'okusaliramu ebyoya by'endiga, abasajja amakumi ana mu babiri; so teyafissaawo n'omu ku bo.
Awo Yeeku n'atuma okubunya Isiraeri yonna: abaasinza Baali bonna ne bajja n'okusigala n'etasigala muntu atajja. Ne bajja mu nnyunba ya Baali; ennyumba ya Baali n'ejjula okuva ku mulyango okutuuka ku buziizi.
Yeeku ne Yekonadabu mutabani wa Lekabu ne bayingira mu nnyumba ya Baali; n'agamba abasinza Baali nti Munoonye mulabe muleme okuba muno nammwe ku baddu ba Mukama, wabula abasinza Baali bokka.
Awo ne bayingira okuwaayo ssaddaaka n'ebiweebwayo ebyokebwa. Era Yeeku yali ataddewo abasajja kinaana ebweru n'ayogera nti Ku basajja be nnaaleeta mu mikono gyammwe bwe kunaabulako n'omu, amuta obulamu bwe bunaaba mu kifo ky'obulamu bw'oyo.
Mukama n'agamba Yeeku nti Kubanga okoze bulungi ng'otuukirizza ebiri mu maaso gange ebirungi, n'okola ennyumba ya Akabu nga byonna bwe biri ebyali mu mutima gwange, batabani bo bannakana kyebaliva batuula ku ntebe ya Isiraeri.
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yeeku ne byonna bye yakola, n'amaanyi ge gonna tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?