Luganda Bible
|
| 1 |
| Awo Asaliya nnyina Akaziya bwe yalaba omwana we ng'afudde, n'agolokoka n'azikiriza ezzadde lyonna erya kabaka. |
| 2 |
| Naye Yekoseba muwala wa kabaka Yolaamu mwannyina Akaziya n'atwala Yowaasi mutabani wa Akaziya n'amubba n’amuggya mu baana ba kabaka abattibwa, ye n'omulezi we n'abateeka mu kisenge eky'okusulamu; ne bamukweka Asaliya, aleme okuttibwa. |
| 3 |
| Awo n'abeera naye ng'akwekeddwa mu nnyumba ya Mukama n'amala emyaka mukaaga: Asaliya n’afuga ensi. |
| 4 |
| Awo mu mwaka ogw'omusanvu Yekoyaada n'atuma n'akima abaami b'ebikumi ab'oku Bakali n'abambowa, n'abaleeta gy'ali mu nnyumba ya Mukama; n'alagaana nabo endagaano n'abalayiza ekirayiro mu nnyumba ya Mukama, n'abalaga omwana wa kabaka. |
| 5 |
| Awo n'abalagira ng'ayogera nti Ekigambo kino kye muba mukola: ekitundu kyammwe eky'okusatu abaayingira ku ssabbiiti banaaba n'omulimu ogw'okukuuma ennyumba ya kabaka; |
| 6 |
| n'ekitundu eky'okusatu banaaba ku mulyango Suuli: n'ekitundu eky'okusatu banaaba ku mulyango ennyuma w'abambowa: bwe mutyo bwe munaaba n'omulimu ogw'okukuuma ennyumba, ne muba lukomera. |
| 7 |
| N'ebibiina byammwe ebibiri, bonna abaafuluma ku ssabbiiti, muliba n'omulimu ogw'okukuuma ennyumba ya Mukama okwetooloola kabaka. |
| 8 |
| Era muneetooloola kabaka enjuyi zonna, buli muntu ng'akutte ebyokulwaanyisa bye mu mukono gwe; n'oyo anaayingira mu nnyiriri attibwe: era mubenga ne kabaka bw'anaafulumanga era bw'anaayingiranga. |
| 9 |
| Abaami b'ebikuni ne bakola nga byonna bwe biri Yekoyaada kabona by'alagidde: ne batwala buli muntu abasajja be, ab'okuyingira ku ssabbiiti wamu n'ab'okufuluma ku ssabbiiti, ne bajja eri Yekoyaada kabona. |
| 10 |
| Awo kabona n'abawa abaami b'ebikumi amafumu n'engabo ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu nnyumba ya Mukama. |
| 11 |
| Awo abambowa ne bayimirira, buli muntu ng'akutte ebyokulwanyisa bye, okuva ku luuyi lw'ennyumba olwa ddyo okutuuka ku luuyi lw'ennyumba olwa kkono, okuliraana ekyoto n'ennyumba awali kabaka enjuyi zonna. |
| 12 |
| Awo n'afulumya omwana wa kabaka n'amutikkira engule ey'obwakabaka n’amuwa obujulirwa; ne bamufuula kabaka ne bamufukako amafuta; ne bakuba mu ngalo ne boogera nti Kabaka, abe mulamu. |
| 13 |
| Awo Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw'abambowa n'olw'abantu, n’ajja eri abantu mu nnyumba ya Mukama: |
| 14 |
| n'atunula, kale, laba, kabaka ng'ayimiridde awali empagi ng'engeri bwe yabanga, n'abaami n'amakondeere nga baliraanye kabaka; n'abantu bonna ab'ensi ne basanyuka ne bafuuwa amakondeere. Awo Asaliya n'ayuza ebyambalo bye n'ayogerera waggulu nti Bujeemu, bujeemu. |
| 15 |
| Awo Yekoyaada kabona n'alagira abaami b'ebikumi abaateekebwawo ku ggye, n'abagamba nti Mumufulumye wakati w'ennyiriri; n'oyo anaamugoberera mumutte n'ekitala: kubanga kabona yayogera nti Aleme okuttirwa mu nnyumba ya Mukama. |
| 16 |
| Awo ne bamusegulira; n'ayita mu kkubo embalaasi we ziyingirira mu nnyumba ya kabaka: n'attirwa eyo. |
| 17 |
| Awo Yekoyaada n'alagaana endagaano eri Mukama ne kabaka n'abantu, babeere abantu ba Mukama; era eri kabaka n'abantu. |
| 18 |
| Awo abantu bonna ab'omu nsi ne bagenda mu nnyumba ya Baali, ne bagimenyamenya; ebyoto bye n'ebifaananyi bye ne babimenyera ddala, ne battira Matani kabona wa Baali mu maaso g'ebyoto. Awo kabona n'assaawo abaami ab'oku nnyumba ya Mukama. |
| 19 |
| N'atwala abaami b'ebikumi n'Abakali, n'abambowa n'abantu bonna ab'omu nsi omwo; ne baserengesa kabaka nga bamuggya mu nnyumba ya Mukama, ne bajja nga bafuluma mu kkubo ery'omulyango gw'abambowa eri ennyumba ya kabaka. |
| 20 |
| Awo abantu bonna ab'omu nsi ne basanyuka, ekibuga ne kitereera: ne battira Asaliya n'ekitala awali ennyumba ya kabaka. |
| 21 |
| Yekoyaasi yali yaakamaze emyaka musanvu bwe yatanula okufuga. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/2kings/011.mp3
25
11