Akazi yali yaakamaze emyaka amakumi abiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi: n'atakola ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebirungi nga Dawudi kitaawe.
Naye n'atambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri, n'okuyisa n'ayisa mutabani we mu muliro ng'eby'emizizo bwe byali eby'ab'amawanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
Awo Lezini kabaka w'e Busuuli ne Peka mutabani wa Lemaliya kabaka wa Isiraeri ne bambuka e Yerusaalemi okulwana: ne bazingiza Akazi, naye ne batayinza kumuwangula.
Mu biro ebyo Lezini kabaka w'e Busuuli mwe yakomerezaawo Obusuuli e Erasi n'agoba Abayudaaya mu Erasi: Abasuuli ne bajja e Erasi ne babeera eyo ne leero.
Awo Akazi n'atumira Tigulasupireseri kabaka w'e Bwasuli ababaka ng'ayogera nti Nze ndi muddu wo era ndi mwana wo: yambuka omponye mu mukono gwa kabaka w'e Busuuli ne mu mukono gwa kabaka wa Isiraeri abangolokokeddeko.
Awo Akazi n'addira ezaabu n’effeeza ezaalabika mu nnyumba ya Mukama ne mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka, n'abiweereza kabaka w'e Bwasuli okuba ekirabo.
Era ekyoto eky'ekikomo ekyali mu maaso ga Mukama n'akiggya mu bwenyi bw'ennyumba wakati w'ekyoto kye n'ennyumba ya Mukama, n'akiteeka ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'ekyoto kye.