Yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Abi muwala wa Zekkaliya.
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okuna ogwa kabaka Keezeekiya, gwe mwaka ogw'omusanvu ogwa Koseya mutabani wa Era kabaka wa Isiraeri Salumaneseri kabaka w'e Bwasuli n'atabaala Samaliya n'kizingiza.
Awo emyaka esatu bwe gyayitawo ne bakimenya: mu mwaka ogw'omukaaga ogwa Keezekiya, gwe mwaka ogw'omwenda ogwa Koseya kabaka wa Isiraeri, Samaliya ne kimenyebwa.
kubanga tebaagondera ddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, naye ne basobya endagaano ye, byonna Musa omuddu wa Mukama bye yalagira, ne batakkiriza kubiwulira newakubadde okubikola.
Mu biro ebyo Keezeekiya n'asala ezaabu ku nzigi za yeekaalu ya Mukama ne kumpagi Keezeekiya kabaka wa Yuda ze yali abisseeko, n'agiwa kabaka w'e Bwasuli.
Awo kabaka w'e Bwasuli n'atuma Talutani ne Labusalisi ne Labusake ng'ayima e Lakisi eri kabaka Keezeekiya, nga balina eggye lingi, e Yerusaalemi. Ne batabaala ne bajja e Yerusaalemi. Awo nga batabadde ne bajja ne bayimirira awali olusalosalo olw'ekidiba ekyengulu ekiri mu luguudo olw'ennimiro y'omwozi w'engoye.
Naye bwe munaŋŋamba nti Twesiga Mukama Katonda waffe: si ye wuuyo Keezeekiya gw'aggidewo ebifo bye ebigulumivu n'ebyoto bye, n'agamba Yuda ne Yerusaalemi nti Munaasinzizanga mu maaso g'ekyoto kino mu Yerusaalemi?
Kale onooyinza otya okukyusa amaaso g'omwami omu ku abo abasinga obuto ku baddu ba mukama wange, ne weesiga Misiri olw'amagaali n'abeebagala embalaasi.
Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya ne Sebuna ne Yowa ne bagamba Labusake nti Nkwegayiridde, yogera n'abaddu bo mu lulimi Olusuuli; kubanga tulutegeera: so toyogera naffe mu lulimi olw'Abayudaaya mu matu g'abantu abali ku bbugwe.
okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey'eŋŋaano n'omwenge, ensi ey'emigaati n'ensuku ez'emizabbibu, ensi ey'amafuta aga zeyituuni n'omubisi gw'enjuki, mube balamu muleme okufa: so temuwulirizanga Keezeekiya bw'alibasendasenda ng'ayogera nti Mukama alitulokola.
Bali ludda wa bakatonda b’e Kamasi n'ab'e Alupadi? bali ludda wa bakatonda b’e Sefavayimu, ab'e Kena, n'ab'e Yiva? Baalokola Samaliya mu mukono gwange?
Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali saabakaaki ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bajja eri Keezeekiya nga bayuzizza ebyambalo byabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake.