Ne bamugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Keezeekiya nti Olunaku luno lunaku lwa buyinike era lwa kunenyezebwa era lwa kuvumibwa: kubanga abaana batuuse okuzaalibwa, so tewali maanyi ga kuzaala.
Bwe mutyo bwe muba mugamba Keezeekiya kabaka wa Yuda nti Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng'ayogera nti Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli.
Awo Keezeekiya n'asaba mu maaso ga Mukama n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wa Isiraeri, atuula ku bakerubi, ggwe Katonda, ggwe wekka, ow'obwakabaka bwonna obw'ensi; ggwe wakola eggulu n'ensi.
Kino kye kigambo Mukama ky'ayogedde ku ye: nti Omuwala wa Sayuuni atamanyanga musajja akunyoomye, akusekeredde; omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyerezza omutwe.
Ovumidde Mukama mu babaka bo n'oyogera nti Nninnye ku ntiko y'ensozi n'olufulube lw'amagaali gange, ku njuyi ez'omunda eza Lebanooni; era nditema emivule gyako emiwanvu n'emiberosi gyako egisinga obulungi: era ndiyingira mu kisulo kyako ekikomereddeyo, mu kibira eky'ennimiro yaako engimu.
Ababituulamu kyebava babeera n'amaanyi amatono, ne batekemuka ne bakeŋŋentererwa; ne baba ng'essubi ery'omu ttale era ng'omuddo omubisi, ng'essubi eriri waggulu ku nnyumba, era ng'eŋŋaano ekaze nga tennakula.
Kubanga ondalukira era kubanga essukuti lyo lirinnye mu matu gange, kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo zo n'olukoba lwange mu mimwa gyo, ne nkuddizaayo mu kkubo lye wafulumamu.
Era kano ke kanaaba akabonero gy'oli: mulirya mu mwaka guno ekyo ekimera kyokka, ne mu mwaka ogw'okubiri ekyo ekikivaamu okuloka; ne mu mwaka ogw'okusatu musige mukungule musimbe ensuku ez'emizabbibu mulye ku bibala byamu.
Awo olwatuuka bwe yali ng'asinziza mu ssabo lya Nisuloki katonda we, Adulammereki ne Salezeri ne bamutta n'ekitala: ne baddukira mu nsi y'e Alalati. Esaladoni mutabani we n'afuga mu kifo kye.