Awo Eriya n'agamba Erisa nti Beera wano, nkwegayiridde; kubanga Mukama antumye e Beseri. Erisa n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu, sijja kukuleka. Awo ne baserengeta ne bajja e Beseri.
Awo abaana ba bannabbi abaali e Beseri ne bafuluma eri Erisa, ne bamugamba nti Omanyi nga Mukama anaggya mukama wo ku mutwe gwo leero? N'ayogera nti Weewaawo, mmanyi; mmwe musirike.
Awo Eriya n'amugamba nti Erisa, beera wano. nkwegayiridde; kubanga Mukama antumye e Yeriko. N'ayogera nti Nga Mukama bw’ali omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu, sijja kukuleka. Awo ne bajja e Yeriko.
Awo abaana ba bannabbi abaali e Yeriko ne bafuluma eri Erisa, ne basemberera Erisa ne bamugamba nti Omanyi nga Mukama anaggya mukama wo ku mutwe gwo leero? N'addamu nti Weewaawo, mmanyi; mmwe musirike.
Awo Eriya n'amugamba nti Nkwegayiridde, beera wano; kubanga Mukama antumye e Yoludaani. N'ayogera nti nga Mukama bw'ali omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu, sijja kukuleka. Awo abo bombi ne batambula.
Awo olwatuuka nga bakyatambula nga boogera, laba, ne walabika eggaali ery'omuliro n'embalaasi ez'omuliro ne zibaawula bombi; Eriya n'alinnya mu ggulu n'embuyaga ez'omuzimu.
Awo abaana ba bannabbi abaali e Yeriko okumwolekera bwe baamulaba, ne boogera nti Omwoyo gwa Eriya gutuula ku Erisa. Ne bajja okumusisinkana, ne bavuunama mu maaso ge.
Awo ne bamugamba nti Laba nno waliwo abasajja amakumi ataano ab'amaanyi wamu n'abaddu bo; tukwegayiridde bagende banoonye mukama wo: mpozzi omwoyo gwa Mukama gumusitudde ne gumusuula ku lusozi oba mu kiwonvu; N'ayogera nti Temutuma.
Awo n'avaayo n'ayambuka n'agenda e Beseri: awo ng'ali mu kkubo ng'ayambuka abaana abato ne bava mu kibuga ne bamuduulira ne bamugamba nti Yambuka, ggwe ow'ekiwalaata; yambuka, ggwe ow'ekiwalaata.