Kabaka n'ayambuka mu nnyumba ya Mukama, n'abasajja bonna aba Yuda ne bonna abatuula mu Yerusaalemi wamu naye ne bakabona ne bannabbi n'abantu bonna, abato n'abakulu: n'asoma mu matu gaabwe ebigambo byonna eby'ekitabo eky'endagaano ekizuuliddwa mu nnyumba ya Mukama.
N'aggya Asera mu nnyumba ya Mukama ebweru wa Yerusaatemi n'akireeta ku kagga Kiduloni n'akyokera ku kagga Kiduloni n'akirinnyirira n'akifuula effufugge n’asuula effufugge lyakyo ku malaalo g'abakopi.
Era naye bakabona ab'ebifo ebigulumivu ne batayambuka eri ekyoto kya Mukama mu Yerusaalemi, naye ne baliiranga emigaati egitazimbulukuswa mu baganda baabwe.
Era n'ayonoona Tofesi ekiri mu kiwonvu eky'abaana ba Kinomu, omuntu yenna aleme okuyisa omwana we ow'obulenzi newakubadde ow'obuwala mu muliro eri Moleki.
N'aggyawo embalaasi bakabaka ba Yuda ze baali bawadde enjuba, awayingirirwa mu nnyumba ya Mukama, awali enju ya Nasanumereki omulaawe, eyaliraana yeekaalu; n'ayokya amagaali g'enjuba omuliro.
Awo n'ayogera nti Kijjukizo ki ekyo kye ndaba? Abasajja ab'omu kibuga ne bamubuulira nti Ge malaalo g'omusajja wa Katonda eyava mu Yuda n'alangirira ebigambo ebyo by'okoze ku kyoto eky'omu Beseri.
Mazima tebaakwatanga Kuyitako okwenkana awo okuva ku mirembe gy'abalamuzi abaalamula Isiraeri newakubadde mu mirembe gyonna egya bassekabaka ba Isiraeri newakubadde mu gya bassekabaka ba Yuda;
Era nate abo abaaliko emizimu n'abasawo ne baterafi n'ebifaananyi n'emizizo gyonna egyalabika mu nsi ya Yuda ne mu Yerusaalemi Yosiya n'abiggyawo, alyoke anyweze ebigambo eby'amateeka ebyawandiikibwa mu kitabo Kirukiya kabona kye yazuula mu nnyumba ya Mukama.
Era tewali kabaka eyamusooka eyamufaanana eyakyukira Mukama n'omutima gwe gwonna n'emmeeme ye yonna n'amaanyi ge gonna ng'amateeka ga Musa gonna bwe gali; so n'oluvannyuma lwe tewaagolokoka n'omu eyamufaanana.
Mukama n'ayogera nti Ndiggyawo ne Yuda mu manso gange nga bwe nziyeewo Isiraeri, era ndisuula ekibuga kino kye nneeroboza, Yerusaalemi, n'ennyumba gye nnayogerako nti Erinnya lyange linaabanga eyo.
Abaddu be ne bamusitulira mu ggaali ng'afudde ne bamuggya e Megiddo, ne bamuleeta e Yerusaalemi ne bamuziika mu ntaana ye. Abantu ab'omu nsi ne batwala Yekoyakaazi mutabani wa Yosiya ne bamufukako amafuta ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe.
Awo Falaawoneko n'amusibira mu masamba e Libula mu nsi y'e Kamasi aleme okufuga mu Yerusaalemi: n'asalira ensi omusolo ogw'effeeza talanta kikumi n'ezaabu talanta emu.