Awo Yekolaamu mutabani wa Akabu n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya mu mwaka ogw'ekkumi mu munaana ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, n'afugira emyaka kkumi n'ebiri.
Awo kabaka wa Isiraeri n'agenda ne kabaka wa Yuda ne kabaka wa Edomu: ne beetooloola olugendo lwa nnaku musanvu: so nga tewaali mazzi ga ggye newakubadde ag'ensolo ez'abagoberera.
Naye Yekosafaati n'ayogera nti Tewali wano nnabbi wa Mukama tubuulize mu ye eri Mukama? Awo omu ku baddu ba kabaka wa Isiraeri n'addamu n'ayogera nti Erisa mutabani wa Safati wano eyafukiriranga amazzi mu ngalo za Eriya.
Erisa n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Nfaayo ki eri ggwe? genda eri bannabbi ba kitaawo n'eri bannabbi ba nnyoko. Kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Nedda: kubanga Mukama ayise bakabaka bano abasatu okukuŋŋaana okubagabula mu mukono gwa Mowaabu.
Erisa n'ayogera nti Nga Mukama w'eggye bw'ali omulamu gwe nnyimirira mu maaso ge, mazima singa sirowooza Yekosafaati kabaka wa Yuda okubaawo, sandikutunuulidde so sandikulabye.
Awo bwe baatuka mu lusiisira lwa Isiraeri, Abaisiraeri ne bagolokoka ne bakuba Abamowaabu n'okudduka ne badduka mu maaso gaabwe: ne beeyongerayo mu nsi nga bakuba Abamowaabu.
Ne bamenyamenya ebibuga; n'awali omusiri omulungi ogw'ettaka ne bakasuka buli muntu ejjinja lye ne wajjula; ne baziba enzizi zonna ez'amazzi, ne batema emiti gyonna emirungi okutuusa lwe baasigazaawo mu Kirukalesesi amayinja gamu gokka; naye ab'envuumuulo ne batambulatambula mu nsi ne bagikuba.
Awo n'addira mutabani we omubereberye eyandifuze mu kifo kye, n'amuwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ku bbugwe. Ne waba obusungu bungi eri Isiraeri: ne bamuvaako ne baddayo mu nsi yaabwe.