Mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obwakabaka bwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, Yekolaamu mutabani wa Akabu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri e Samaliya, era n’afugira emyaka kkumi n’ebiri.
N’atumira ne Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Kabaka wa Mowaabu anjeemedde, onooyinza okumbeera tumulwanyise?” Yekosafaati n’amuddamu nti, “Nnaagenda naawe, kubanga nze ndi nga bw’oli, era abantu bange be bantu bo, n’embalaasi zange ze zizo.”
Awo kabaka wa Isirayiri, n’asitukira wamu ne kabaka wa Yuda ne kabaka wa Edomu ne bagenda mu lutalo. Ne batambula olugendo lwa nnaku musanvu, n’oluvannyuma ne beesanga ng’eggye amazzi galiweddeko, nga n’ebisolo byabwe tebirina wadde ettondo.
Kyokka Yekosafaati n’abuuza nti, “Tewali wano nnabbi wa Mukama tumwebuuzeeko?” Awo omu ku bakungu ba kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Wano waliwo Erisa mutabani wa Safati. Ye yali omuweereza wa Eriya ow’oku mwanjo.”
Yekosafaati n’ayogera nti, “Alina ekigambo okuva eri Mukama.” Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda, awamu ne kabaka wa Isirayiri, ne kabaka wa Edomu ne baserengeta gy’ali.
Mulizikiriza buli kibuga ekyetooloddwa bbugwe na buli kibuga ekikulu, era mulitema buli muti omulungi, ne muziyiza n’enzizi okuleeta amazzi, era ne mwonoona buli nnimiro nga mugijjuza amayinja.’ ”
Ne bamenyaamenya ebibuga by’Abamowaabu, ne bakanyuga amayinja ku buli kibanja ekirungi okutuusa lwe gaakolangako entuumo; ne baziba enzizi zonna ez’amazzi, ne batema na buli muti omulungi. Kirukalesesi kye kifo kyokka ekyali kitalumbiddwa, naye oluvannyuma abasajja ab’envuumuulo ne bakirumba.
N’addira mutabani we omuggulanda, eyali ateekwa okumusikira, n’amuweerayo ku bbugwe w’ekibuga ng’ekiweebwayo ekyokebwa. Abayisirayiri ne beesisiwala nnyo ne beetamwa, era ne baddayo mu nsi yaabwe.