Oba nga tunaagamba nti Tunaayingira mu kibuga, kale enjala ng'eri mu kibuga, kale tunaafiira omwo: era oba nga tunaatuula wano butuuzi, era tunaafa. Kale nno mujje tusenge eggye ly'Abasuuli: bwe banaatuwonya nga balamu, kale tuliba balamu; era bwe banaatutta, tunaamala gafa.
Awo ne bagolokoka ne badduka kiro, ne baleka eweema zaabwe n'embalaasi zaabwe, n'endogoyi zaabwe, olusiisira nga bwe lwali, ne badduka olw'obulamu bwabwe.
Awo abagenge abo bwe baatuuka ku lusiisira we lukoma, ne bayingira mu weema emu ne balya ne banywa; ne baggyamu effeeza n'ezaabu n'ebyambalo, ne bagenda ne babikweka; ne bakomawo ne bayingira mu weema endala ne baggya n'omwo ne bagenda ne bakweka.
Awo ne bajja ne bakoowoola omuggazi w'ekibuga: ne bababuulira nti Twatuuse mu lusiisira lw'Abasuuli, kale, laba, nga temuli muntu newakubadde eddoboozi ly'omuntu, naye embalaasi nga zisibiddwa n'eadogoyi nga zisibiddwa n'eweema nga bwe zaali.
Awo kabaka n'agolokoka kiro n'agamba abaddu be nti Kaakano naabategeeza Abasuuli kye batukoze. Bamanyi ng'enjala etuluma; kyebavudde bava mu lusiisira okwekweka mu nsiko nga boogera nti Bwe banaava mu kibuga tunaabawamba nga balamu, ne tuyingira mu kibuga.
Ne babagoberera okutuuka ku Yoludaani: kale, laba, ekkubo lyonna nga lijjudde ebyambalo n'ebintu Abasuuli bye basudde nga banguwa. Ababaka ne bakomawo ne babuulira kabaka.