Elisa n'agamba nti: “Muwulire ekigambo ky'Omukama. Omukama kino ky'agamba: ‘Enkya mu budde nga buno, seya y'obuwunga obukuŋŋunte eneeba egula sekeli ya ffeeza emu, ate seya bbiri eza sayiri zijja kugula sekeli ya ffeeza emu ku wankaaki wa Samariya.’ ”
Abagenge bwe baatuuka ku ndeboolebo z'olusiisira, ne bayingira mu weema emu. Ne balya, ne banywa, ne batwala ffeeza, zaabu, n'ebyambalo, ne bagenda babikweka. Ne bakomawo ne bayingira mu weema endala, namwo ne batwalamu ebintu, ne bakweka.
Kabaka n'asituka ekiro, n'agamba abaweereza be nti: “Mbabuulire Abaaramu kye batukoze? Bamanyi nga tufa enjala, kyebavudde bava mu nsiisira ne beekweka ku ttale, nga bagamba nti: ‘Bajja kuvaayo mu kibuga, awo tujja kubakwata nga balamu,’ olwo ffe tuyingire mu kibuga.”
Ne babawondera okutuuka ku Yorudani. Ekkubo lyonna lyali lijjudde ebyambalo n'ebintu by'Abaaramu bye baagendanga basuula nga baduma. Ababaka ne bakomawo, ne bategeeza kabaka.
Abantu ne bafuluma, ne banyaga olusiisira lw'Abaaramu. Seya y'obuwunga obukuŋŋunte ng'egula sekeli ya ffeeza emu, ate seya ebbiri eza sayiri nga zigula sekeli emu, ng'Omukama bwe yali agambye.
Kyatuukirira ng'omuntu wa Katonda bwe yali agambye kabaka nti: “Enkya mu budde nga buno, seya y'obuwunga obukuŋŋunte eneeba egula sekeli ya ffeeza emu, ate seya bbiri eza sayiri zijja kugula sekeli ya ffeeza emu ku wankaaki wa Samariya.”