Kale bw'olituukayo onoonyezanga eyo Yeeku mutabani wa Yekosafaati mutabani wa Nimusi, oyingire omugolokose ave mu baganda be, omuyingize mu kisenge eky'omunda.
Awo bwe yatuuka n'asanga abaami ab'omu ggye nga batudde; n'ayogera nti Ndiko kye ntumiddwa gy'oli, ggwe omwami. Yeeku n'ayogera nti Eri ani ku ffe fenna? N'ayogera nti Eri ggwe, omwami.
N'agolokoka n'ayingira mu nnyumba; n'afuka amafuta ku mutwe gwe n'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Nkufuseeko amafuta okuba kabaka w'abantu ba Mukama, owa Isiraeri.
Era olikuba ennyumba ya Akabu mukama wo mpalane eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu bange bannabbi, n'omusaayi gw'abaddu bonna aba Mukama eri omukono gwa Yezeberi.
Ne boogera nti olimba; tubuulire nno. N'ayogera nti Bw'ati bw'ati bw'aŋŋambye nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkufuseeko amafuta okuba kabaka wa Isiraeri.
Awo Yeeku mutabani wa Yekosafaati mutabani wa Nimusi ne yeekobaana Yolaamu. (Era Yolaamu yali ng'akuuma Lamosugireyaadi) ye ne Isiraeri yenna, olwa Kazayeeri kabaka w'e Busuuli:
naye kabaka Yolaamu yali akomyewo okuwonera e Yezuleeri ebiwundu Abasuuli bye baamufumita bwe yalwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli.) Awo Yeeku n'ayogera nti Oba nga bwe mwagala bwe mutyo, kale waleme okubaawo anaawona n'ava mu kibuga okugenda okukibuulira mu Yezuleeri.
Omukuumi n'abuulira ng'ayogera nti Atuuse gye bali, so tadda: era entambula eriŋŋanga entambula ya Yeeku mutabani wa Nimusi; kubanga atambula ng'awulukuka.
Yolaamu n'ayogera nti Muteeketeeke. Ne bateekateeka eggaali lye. Yolaamu kabaka wa Isiraeri ne Akaziya kabaka wa Yuda ne bafuluma, buli muntu mu ggaali lye, ne bafuluma okusisinkana Yeeku, ne bamusanga mu musiri gwa Nabosi Omuyezuleeri.
Awo Yeeku n'anaanuula omutego gwe n'amaanyi ge gonna n'alasa Yolaamu wakati w'emikono gye, akasaale ne kayitamu ne kagguka awali omutima, n'agwira mu ggaali lye.
Naye Akaziya kabaka wa Yuda bwe yalaba kino, n'addukira mu kkubo ery'omu nnyumba ey'olusuku. Yeeku n'amugoberera n'ayogera nti Mumuttire mu ggaali naye: ne bamuttira awalinnyirwa okugenda e Guli ekiriraanye Ibuleamu. N'addukira e Megiddo n'afiira eyo.
Kyebaava bakomawo ne bamubuulira. Naye n'ayogera nti Kino kye kigambo kya Mukama kye yayogerera mu muddu we Eriya Omutisubi ng'ayogera nti Embwa ziririira omubiri gwa Yezeberi mu musiri ogw'e Yezuleeri: