Mu biro eby'edda Sawulo bwe yali nga ye kabaka, ggwe wafulumyanga n'oyingiza Isiraeri: Mukama Katonda wo n'akugamba nti Ggwe olirunda abantu bange Isiraeri, era ggwe oliba omulangira w'abantu bange Isiraeri.
Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja eri kabaka e Kebbulooni; Dawudi n'alagaana nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama; ne bafuka ku Dawudi amafuta okuba kabaka wa Isiraeri, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali mu mukono gwa Samwiri.
Era bano be baasinga obukulu mu bazira Dawudi be yalina, abeeraga nga ba maanyi eri ye mu bwakabaka bwe wamu ne Isiraeri yenna, okumufuula kabaka, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali ekya Isiraeri.
Oyo yali wamu ne Dawudi e Pasudammiimu, era Abafirisuuti ne bakuŋŋaanira eyo okulwana, awaali omusiri ogwa sayiri; abantu ne badduka mu maaso g'Abafirisuuti.
Awo abasatu ku bakulu amakumi asatu ne baserengeta eri olwazi eri Dawudi, mu mpuku ya Adulamu; eggye ly'Abafirisuuti nga basiisidde mu kiwonvu Lefayimu.
Awo abo abasatu ne bawaguza mu ggye ly'Abafirisuuti, ne basena amazzi mu luzzi olw'e Besirekemu olwaliraana omulyango, ne bagatwala ne bagaleetera Dawudi: naye Dawudi n'atakkiriza kunywako, naye n'agafuka eri Mukama, n'ayogera nti
Benaya mutabani wa Yekoyaada omwana w'omuzira ow'e Kabuzeeri, eyali akoze eby'amaanyi, oyo n'atta batabani ba Alyeri, owa Mowaabu bombi: era n'aserengeta n'atta empologoma wakati mu bunnya mu biro eby'omuzira.