Baakwatanga emitego era baayinza okuvuumuula amayinja n'okulasa obusaale ku mutego n'omukono ogwa ddyo era n'ogwa kkono; baali ba ku baganda ba Sawulo, ba Benyamini.
Akiyezeri ye yali omukulu, Yowaasi n'amuddirira, batabani ba Semaa Omugibeya; ne Yeziyeri ne Pereti, batabani ba Azumavesi; ne Beraka, ne Yeeku Omwanasosi;
ne Isumaya Omugibyoni, omusajja ow'amaanyi mu abo amakumi asatu, era omukulu w'amakumi asatu; Yeremiya, ne Yakaziyeri, ne Yokanani, ne Yozabadi Omugederi;
Ne ku Bagaadi ne kweyawula abaagoberera Dawudi ku kiddukiro mu ddungu abasajja ab'amaanyi abazira, abasajja abaayigirizibwa okulwana, abaayinza okukwata engabo n'effumu; amaaso gaabwe nga gafaanana amaaso g'empologoma, era ab'embiro ng'empeewo eziri ku nsozi;
Abo be baasomoka Yoludaani mu mwezi ogw'olubereberye, nga gumaze okwanjaala ku ttale lyagwo lyonna; ne bagoba abo bonna ab'omu biwonvu, ebuvanjuba era n'ebugwanjuba.
Dawudi n'afuluma okubasisinkana, n'addamu n'abagamba nti Oba nga muzze gye ndi mirembe okunnyamba, omutima gwange guneegatta nammwe: naye oba nga muzze okundyamu olukwe eri abalabe bange, nga temuli kabi nu mikono gyange, Katonda wa bajjajjaffe akitunuulire, akinenye:
Awo omwoyo ne gulyoka gujja ku Amasayi, eyali omukulu w'abo amakumi asatu, n'ayogera nti Tuli babo, Dawudi, era tuli ku lulwo, gwe mutabani wa Yese: emirembe, emirembe gibe gy'oli, era emirembe gibe eri abo abakuyamba; kubanga Katonda wo akuyamba. Awo Dawudi n'abaaniriza, n'abafuula abaami b'ekitongole.
Era ne ku Manase ne kusenguka abamu ne basenga Dawudi, bwe yajja awamu n'Abafirisuuti okutabaala Sawulo, naye ne batabayamba: kubanga abakungu b'Abafirisuuti bwe baamala okuteesa ne bamugoba, nga boogera nti Anaasenga mukama we Sawulo n'aleeta akabi ku mitwe gyaffe.
Bwe yali ng'agenda e Zikulagi, ne kumusenga ku Manase Aduna ne Yozabadi ne Yediyayaeri ne Mikayiri ne Yozabadi ne Eriku ne Zirresayi, abaami b'enkumi aba Manase.
Era gino gye miwendo gy'emitwe gy'abo abaakwata ebyokulwanyisa okulwana, abajja eri Dawudi e Kebbulooni, okukyusa obwakabaka bwa Sawulo eri ye, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali.
Ku Zebbulooni abo abaayinza okutabaala mu ggye, abaayinza okusimba ennyiriri, n'ebyokulwanyisa eby'engeri zonna, obukumi butaano; era abaayinza okusimba (ennyiriri,) so abataali ba mitima ebiri.
N'emitala wa Yoludaani, ku Balewubeeni n'Abagaadi ne ku kitundu ky'ekika kya Manase, nga balina ebyokulwaayisa eby'engeri zonna olw'olutalo, kasiriivu mu obukumi bubiri.
Era nate abo abaabali okumpi, okutuuka ku Isakaali ne Zebbulooni ne Nafutaali, ne baleeta emigaati ku ndogoyi ne ku ŋŋamira ne ku nnyumba ne ku nte, ebyokulya eby'obutta; n'ebitole eby'ettiini n'ebirimba eby'ezabbibu enkalu n'omwenge n'amafuta n'ente n'endiga nnyingi: kubanga mu Isiraeri nga mulimu essanyu.