|
| 1 |
|
| Kabaka Kiramu ow’e Ttuulo n’atuma ababaka ne batwala emivule, ne bagenda n’abazimbi b’amayinja, n’ababazzi eri Dawudi okumuzimbira olubiri. |
|
| 2 |
|
| Awo Dawudi n’ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isirayiri, era nga n’obwakabaka bwe bwagulumizibwa nnyo olw’abantu ba Mukama Isirayiri. |
|
| 3 |
|
| Dawudi ne yeeyongera okuwasa abakazi abalala mu Yerusaalemi, ne bamuzaalira abaana abalala bangi aboobulenzi n’aboobuwala. |
|
| 4 |
|
| Amannya g’abaana abaamuzaalirwa ge gaano: Sammuwa, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani, |
|
| 5 |
|
| ne Ibukali, ne Eriswa, ne Erupereti, |
|
| 6 |
|
| ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya, |
|
| 7 |
|
| ne Erisaama, ne Beeriyadda, ne Erifereti. |
|
| 8 |
|
| Awo Abafirisuuti bwe baawulira nti Dawudi yafukibwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri yenna, ne bambuka okugenda okumunoonya, naye Dawudi n’akiwulirako era n’agenda okubatabaala. |
|
| 9 |
|
| Abafirisuuti baali bazze nga bazinze ekiwonvu Lefayimu; |
|
| 10 |
|
| Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende ntabaale Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwange?” Mukama n’amuddamu nti, “Genda, kubanga nnaabagabula mu mukono gwo.” |
|
| 11 |
|
| Awo Dawudi n’ayambuka ne basajja be e Baaluperazimu, n’atabaala Abafirisuuti n’abawangula. N’ayogera nti, “Katonda awangudde abalabe bange n’omukono gwe, ng’amazzi bwe gawaguza.” Era ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Baaluperazimu. |
|
| 12 |
|
| Abafirisuuti baali balese awo balubaale baabwe be beekolera, Dawudi n’alagira okwokya balubaale abo. |
|
| 13 |
|
| Abafirisuuti ne badda, ne bazinda ekiwonvu. |
|
| 14 |
|
| Awo Dawudi n’addamu ne yeebuuza ku Mukama, Mukama n’amuddamu nti, “Tobatabaalirawo, naye beetooloole, obalumbe ng’obafuluma mu maaso g’emitugunda. |
|
| 15 |
|
| Awo bw’onoowulira eddoboozi ery’okukumba waggulu mu mitugunda, onootabaala, kubanga ekyo kinaategeeza nti Katonda akukulembedde okuzikiriza eggye ly’Abafirisuuti.” |
|
| 16 |
|
| Dawudi n’akola nga Mukama bwe yamulagira, ne bazikiriza eggye ly’Abafirisuuti, okuva e Gibyoni okutuuka e Gezeri. |
|
| 17 |
|
| Awo ettutumo lya Dawudi ne libuna ensi zonna, Mukama n’aleetera amawanga gonna okutya Dawudi. |
|
|
|
|