n'abagamba nti Mmwe muli mitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe ez'Abaleevi: mwetukuze, mmwe era ne baganda bammwe, mulyoke mulinnyise essanduuko ya Mukama Katonda wa Isiraeri mu kifo kye ngitegekedde.
Awo Abaleevi ne balonda Kemani mutabani wa Yoweeri; ne ku baganda be, Asafu mutabani wa Berekiya; ne ku batabani ba Merali baganda baabwe, Esani mutabani wa Kusaya;
era wamu nabo baganda baabwe ab'omutindo ogw'okubiri, Zekkaliya, Beni, ne Yaaziyeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Unni, Eriyaabu, ne Benaya, ne Maaseya, ne Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, ne Obededomu, ne Yeyeeri, abaggazi.
Ne Sebaniya ne Yosafaati ne Nesaneri ne Amasayi ne Zekkaliya ne Benaya ne Eryeza bakabona be baafuuwanga amakondeere mu maaso g'essanduuko ya Katonda: ne Obededomu ne Yekiya be baali abaggazi ab'oku ssanduuko.
Awo Dawudi n'abakadde ba Isiraeri n'abaami b'enkumi ne bagenda okulinuyisa essanduuko ey'endagaano ya Mukama okugiggya mu nnyumba ya Obededomu n'essanyu:
Awo olwatuuka essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe yali ng'ejja mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'alingiza mu ddirisa, n'alaba kabaka Dawudi ng'azina era ng'azannya; n'amunyooma mu mutima gwe.