Ne bayingiza essanduuko ya Katonda, ne bagisimba wakati mu weema Dawudi gye yagikubira: ne baweerayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Katonda.
Era n'assaawo abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g'essanduuko ya Mukama, n'okujjukizanga n'okwebazanga Mukama, Katonda wa Isiraeri n'okumutenderezanga:
Asafu omukulu, addirira Zekkaliya, Yeyeeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Mattisiya, ne Eriyaabu, ne Benaya, ne Obededomu, ne Yeyeeri, nga balina entongooli n'ennanga; ne Asafu ng'alina ebitaasa nga bivuga nnyo;
Yeebazibwe Mukama, Katonda wa Isiraeri, Okuva mu mirembe gyonna okutuuka mu mirembe gyonna. Awo abantu bonna ne boogera nti Amiina, ne batendereza Mukama.
Awo n'aleka eyo mu maaso g'essanduuko ey'endagaano ya Mukama Asafu ne baganda be, okuweererezanga mu maaso g'essanduuko obutayosangawo, ng'omulimu ogwa buli lunaku bwe gwayagalanga:
okuweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa obutayosa enkya n'akawungeezi, nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yalagira Isiraeri;
era wamu nabo Kemani ne Yedusuni nga balina amakondeere n'ebitaasa olw'abo abagenda okubikuba, era (nga balina) ebireeta ennyimba za Katonda: ne batabani ba Yedusuni okuba ku mulyango.