1
Ebyo bwe byaggwa, Kabaka Dawudi n'alwanyisa Abafilistiya n'abawangula, n'aggya mu mikono gyabwe Ekibuga Gaati n'obubuga obukyetoolodde.
2
N'awangula n'ensi Mowaabu, Abamowaabu ne bafuuka abaddu be ne bamuwanga omusolo.
3
Dawudi n'awangula ne Hadadezeri Kabaka w'e Zoba, ekiri okumpi ne Hamati, Hadadezeri oyo bwe yali ng'agenda okunyweza obufuzi bwe mu kitundu ekiriraanye Omugga Ewufuraate.
4
Dawudi n'amuwambako amagaali lukumi, n'abaserikale kasanvu abeebagala embalaasi, n'abalala emitwalo ebiri ab'ebigere. Embalaasi zonna ezisika amagaali, Dawudi n'azitema enteega okuggyako ezo zokka ezimala okusika amagaali ekikumi.
5
Abasiriya ab'e Damasiko bwe bajja okuddukkirira Hadadezeri Kabaka w'e Zoba, Dawudi n'abattamu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri,
6
ensi yaabwe n'agiteekamu enkambi z'abaserikale, Abasiriya ne bafuuka abaddu be, ne bamuwanga omusolo. Mukama n'awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.
7
Dawudi n'anyaga engabo za zaabu abaweereza ba Hadadezeri ze baalina, n'azitwala e Yerusaalemu.
8
Ne mu bibuga Tibuhati ne Kuuni ebyafugibwanga Hadadezeri, Dawudi n'aggyamu ekikomo kingi nnyo. Ekikomo ekyo, Solomooni kye yakozesa ogutanka, n'empagi, n'ebintu ebirala eby'ekikomo.
9
Toowu kabaka w'e Hamati bwe yawulira nga Dawudi awangudde eggye lyonna erya Hadadezeri Kabaka w'e Zoba,
10
n'atuma mutabani we Hadoraamu eri Kabaka Dawudi okumulamusa n'okumukulisa okulwanyisa Hadadezeri n'amuwangula. Hadadezeri oyo yali mulabe wa Toowu. Hadoraamu n'aleetera Dawudi ebirabo ebya buli ngeri, omwali ebya zaabu n'ebya ffeeza n'eby'ekikomo.
11
N'ebyo Kabaka Dawudi n'abiwongera Mukama, wamu ne ffeeza ne zaabu gwe yanyaga mu mawanga gonna: Edomu ne Mowaabu, mu Baamori n'Abafilistiya, ne mu Amaleki.
12
Awo Abisaayi mutabani w'omukazi ayitibwa Zeruyiya, n'attira mu Kiwonvu ky'Omunnyo Abeedomu lukumi mu lunaana.
13
N'ateeka enkambi z'abaserikale mu Edomu. Abeedomu bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n'awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga yonna.
14
Dawudi n'afuga Yisirayeli yonna, era n'akulemberanga abantu be mu mazima n'obwenkanya.
15
Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omuduumizi w'eggye ow'oku ntikko. Yehosafaati mutabani wa Ahiluudi ye yawandiikanga ebyagwangawo.
16
Zaddooki mutabani wa Ahituubu, ne Abimeleki mutabani wa Abiyataari, be baali bakabona, Savusa ye yali omuwandiisi.
17
Benaaya mutabani wa Yehoyaada ye yali akulira abakuumi ba Dawudi Abakereti n'Abapeleti. Bo batabani ba Dawudi, be baali abakungu ababeera kabaka ku lusegere.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.