Dawudi n'ayogera nti Naalaga eby'ekisa Kanuni mutabani wa Nakasi, kubanga kitaawe yandaga eby'ekisa. Awo Dawudi n'atuma ababaka okumukubagiza olwa kitaawe: Abaddu ba Dawudi ne bajja mu nsi y'abaana ba Amoni eri Kanuni, okumukubagiza.
Naye abakungu b'abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni nti Olowooza nga Dawudi assaamu ekitiibwa kitaawo, n'okutuma n'akutumira abakubagiza? abaddu be tebazze okunoonya n'okumenya n'okuketta ensi?
Awo abaana ba Amoni bwe baalaba nga bamutamye Dawudi, Kanuni n'abaana ba Amoni ne baweereza talanta eza ffeeza lukumi okugulirira amagaali n'abeebagala embalaasi mu Mesopotamiya ne mu Alamumaaka, ne mu Zoba.
Awo ne bagulirira amagaali obukumi busatu mu enkumi bbiri ne kabaka w’e Maaka n'abantu be; ne bajja ne basiisira okwolekera Medeba. Abaana ba Amoni ne bakuŋŋaana okuva mu bibuga byabwe ne bajja okulwana.
Awo abaana ba Amoni bwe baalaba Abasuuli nga badduse, era nabo bwe batyo ne badduka mu maaso ga Abisaayi muganda we, ne bayingira mu kibuga. Awo Yowaabu n'ajja e Yerusaalemi.
Awo Abasuuli bwe baalaba nga bagobeddwa mu maaso ga Isiraeri, ne batuma ababaka, ne baggyayo Abasuuli abaali emitala w'Omugga, ne Sofaki omukulu w'eggye lya Kadalezeri nga ye mugabe.
Awo abaddu ba Kadalezeri bwe baalaba nga bagobeddwa mu maaso ga Isiraeri, ne batabagana ne Dawudi, ne bamuweereza; so n'Abasuuli ne batakkiriza kuyamba abaana ba Amoni nate olw'okubiri.