|
| 1 |
|
| Bano be batabani ba Yisirayeli: Rubeni, Simewoni, Leevi, Yuda, Yissakari, Zebuluni, |
|
| 2 |
|
| Daani, Yozefu, Benyamiini, Nafutali, Gaadi ne Aseeri. |
|
| 3 |
|
| Batabani ba Yuda: Eri, Onani ne Sela. Bano abasatu baamuzaalirwa Bati-Suwa, omukazi Omukanaani. Naye Eri, omuggulanda wa Yuda yali mwonoonyi mu maaso g'Omukama, Omukama n'amutta. |
|
| 4 |
|
| Tamari, mukaamwana wa Yuda, yamuzaalira Perezi ne Zeraki. Awamu Yuda yalina batabani be bataano. |
|
| 5 |
|
| Batabani ba Perezi: Kezuroni ne Kamuli. |
|
| 6 |
|
| Batabani ba Zeraki: Zimuri, Etani, Emani, Kalukoli ne Dara. Bonna awamu bataano. |
|
| 7 |
|
| Mutabani wa Karumi: Akari, eyaleetera Yisirayeli omutawaana ng'amenya ekiragiro ku bintu ebyali bisaliddwa okuzikirizibwa. |
|
| 8 |
|
| Mutabani wa Atani: Azariya. |
|
| 9 |
|
| Batabani ba Kezuroni abaamuzaalirwa baali Yerakumeeli, Ramu ne Kelubayi. |
|
| 10 |
|
| Ramu yazaala Amminadabu; Amminadabu n'azaala Nakusoni omulangira w'abantu ba Yuda. |
|
| 11 |
|
| Nakusoni yazaala Saluma; Saluma yazaala Bowazi; |
|
| 12 |
|
| Bowazi yazaala Obedi; Obedi yazaala Yesse; |
|
| 13 |
|
| Yesse yazaala Eliyabu omuggulanda we, owookubiri ye Abinadabu, owookusatu ye Simewa, |
|
| 14 |
|
| owookuna ye Netaneli, owookutaano Raddayi; |
|
| 15 |
|
| owoomukaga ye Ozemu, n'owoomusanvu ye Dawudi. |
|
| 16 |
|
| Bannyinaabwe baali: Zeruya ne Abigayili. Batabani ba Zeruya: Abisayi, Yowabu ne Asaweli; baali basatu. |
|
| 17 |
|
| Abigayili yazaala Amasa; kitaawe wa Amasa ye yali Yeteri Omuyisimayeli. |
|
| 18 |
|
| Kalebu mutabani wa Kezuroni mukazi we yamuzaalira abaana Azuba ko ne Yeriyoti. Batabani be be: Yeseri, Sobabu ne Arudoni. |
|
| 19 |
|
| Azuba bwe yafa, Kalebu n'awasa Efurati eyamuzaalira Kuru. |
|
| 20 |
|
| Kuru yazaala Wuri; Wuri yazaala Bezaleli. |
|
| 21 |
|
| Oluvannyumako Kezuroni yawasa muwala wa Makiri kitaawe wa Gileyaadi. Yamuwasa alina emyaka nkaaga, n'amuzaalira Segubi. |
|
| 22 |
|
| Segubi yazaala Yayiri, eyafuganga ebibuga abiri mu bisatu mu nsi y'e Gileyaadi. |
|
| 23 |
|
| Naye Gessuru ne Aramu baawamba ebibuga bya Yayiri, Kenati n'obubuga bwakyo; bye bibuga nkaaga. Abo be baali ezzadde lya Makiri kitaawe wa Gileyaadi. |
|
| 24 |
|
| Kezuroni ng'amaze okufa Kalebu yawasa Efurata, eyali muka kitaawe Kezuroni, n'amuzaalira Asukuru kitaawe wa Tekowa. |
|
| 25 |
|
| Batabani ba Yerakumeeli omuggulanda wa Kezuroni: Ramu omuggulanda we, Buna, Oreni, Ozemu ne Akiya. |
|
| 26 |
|
| Yerakumeeli yalinayo omukazi omulala eyayitibwanga Atara; ye yali nnyina Onamu. |
|
| 27 |
|
| Batabani ba Ramu omuggulanda wa Yerakumeeli: Maazi, Yamini ne Ekeri. |
|
| 28 |
|
| Batabani ba Onamu: Sammayi ne Yada; batabani ba Sammayi: Nadabu ne Abisuru. |
|
| 29 |
|
| Muka Abisuru yali ayitibwa Abiwayili, era yamuzaalira Akubani ne Molidi. |
|
| 30 |
|
| Batabani ba Nadabu: Seledi ne Appayimu; Seledi yafa talina baana. |
|
| 31 |
|
| Mutabani wa Appayimu yali Yisi; mutabani wa Yisi: Sesani, mutabani wa Sesani: Akulayi. |
|
| 32 |
|
| Batabani ba Yada muganda wa Sammayi: Yeteri ne Yonatani. Yeteri yafa tazadde baana. |
|
| 33 |
|
| Batabani ba Yonatani: Peleti ne Zaza. Abo lye zzadde lya Yerakumeeli. |
|
| 34 |
|
| Sesani teyalina baana ba bulenzi, wabula ba buwala bokka. Yalina omuddu Omumisiri ayitibwa Yaruka. |
|
| 35 |
|
| Sesani omuddu we Yaruka yamuwa muwala we abeere mukazi we. Omuwala n'amuzaalira Attayi. |
|
| 36 |
|
| Attayi yazaala Natani; Natani yazaala Zabadi; |
|
| 37 |
|
| Zabadi yazaala Efulali; Efulali yazaala Obedi; |
|
| 38 |
|
| Obedi yazaala Yewu; Yewu yazaala Azariya; |
|
| 39 |
|
| Azariya yazaala Kelezi; Kelezi yazaala Eleyasa; |
|
| 40 |
|
| Eleyasa yazaala Sisumayi; Sisumayi yazaala Sallumu; |
|
| 41 |
|
| Sallumu yazaala Yekamiya; Yekemiya yazaala Elisama. |
|
| 42 |
|
| Batabani ba Kalebu muganda wa Yerakumeeli: Mesa omuggulanda we, ye yazaala Zifu, ne mutabani we Maresa eyazaala Keburoni. |
|
| 43 |
|
| Batabani ba Keburoni: Kora, Tappuwa, Rekemu ne Sema. |
|
| 44 |
|
| Sema yazaala Rakamu eyazaala Yorukewamu. Rekemu ye yazaala Sammayi. |
|
| 45 |
|
| Mutabani wa Sammayi: Mawoni; Mawoni yazaala Beti-Zuru. |
|
| 46 |
|
| Efa omukazi wa Kalebu omulala yazaala Karani, Moza ne Gazezi. Karani yazaala Gazezi. |
|
| 47 |
|
| Batabani ba Yawudayi: Regemu, Yotamu, Gesani, Peleti, Efa ne Saafi. |
|
| 48 |
|
| Maaka, omukazi wa Kalebu omulala, yazaala Seberi ne Tirukana. |
|
| 49 |
|
| Yazaala ne Saafi kitaawe wa Madumanna, Seva kitaawe wa Makubena, ne Gibewa, ne muwala wa Kalebu Akusa. |
|
| 50 |
|
| Abo lye zzadde lya Kalebu. Bano be baali batabani ba Kuru omuggulanda wa Efurata: Sobali kitaawe wa Kiriyati-Yewarimu, |
|
| 51 |
|
| Saluma kitaawe wa Beteleemu, ne Karefu kitaawe wa Beti-Gaderi. |
|
| 52 |
|
| Batabani ba Sobali kitaawe wa Kiriyati-Yewarimu baali: Aroye, ekyokubiri ky'essiga lya Bamanakati. |
|
| 53 |
|
| N'amasiga ga Kiriyati-Yewarimu gaali: Abayituri, Abaputi, Abasuma, ne Misurayi. Mu bano mwe mwava Abazora n'Abeesutawoli. |
|
| 54 |
|
| Batabani ba Saluma: Beteleemu, abantu b'e Netofa, Aturoti-Beti-Yowabu, ekyokubiri ky'essiga lya Bamanakati, n'Abazora, |
|
| 55 |
|
| n'amasiga g'abawandiisi abaabeeranga e Yaabezi: Abatira, Abasimewa n'Abasuka; bano be Bakeni abaava mu Kamati kitaawe w'ennyumba ya Rekabu. |
|
|
|
|