×

Luganda Bible

1 Ebyomumirembe 20

1
Awo olwatuuka omwaka bwe gwatuukirira mu kiseera bakabaka mwe batabaalira, Yowaabu n'atabaaza amaanyi ag'eggye, n'azisa ensi y'abaana ba Amoni, n'ajja n'azingiza Labba. Naye Dawudi n'asigala e Yerusaalemi. Yowaabu n'amenya Labba, n'akisuula.
2
Awo Dawudi n'aggya engule ya kabaka waabwe ku mutwe gwe, n'alaba obuzito bwayo talanta ya zaabu, era nga mulimu amayinja ag'omuwendo omungi; ne bagiteeka ku mutwe gwa Dawudi: n'aggyamu omunyago ogw'omu kibuga mungi nnyo.
3
N'aggyamu abantu abaali omwo; n'abasala n'emisumeeno n'amannyo ag'ebyuma n'embazzi. Era bw'atyo Dawudi bwe yakola ebibuga byonna eby'abaana ba Amoni. Dawudi n'abantu bonna ne baddayo e Yerusaalemi.
4
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne waba entalo e Gezeri n'Abafirisuuti: awo Sibbekayi Omukusasi n'atta Sippayi ow'oku baana b'erintu: ne bawangulwa.
5
Ne waba nate entalo n'Abafirisuuti; Erukanani mutabani wa Yayiri n'atta Lakami muganda wa Goliyaasi Omugitti, olunyago lw'effumu lye lwali ng'omuti ogulukirwako engoye.
6
Ne waba nate entalo e Gaasi, eyali omusajja omuwanvu ennyo, engalo ze n'obugere bwe amakumi abiri mu buna, buli mukono mukaaga, na buli kigere mukaaga; era naye yazaalirwa erintu eryo.
7
Awo bwe yasoomoza Isiraeri, Yonasaani mutabani wa Simeeya muganda wa Dawudi n'amutta.
8
Abo baazaalirwa erintu eryo e Gaasi; ne bagwa n'omukono gwa Dawudi, n'omukono gw'abaddu be.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes