×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

1 Ebyomumirembe 20

1
Awo olwatuuka, mu kiseera ky'omwaka bakabaka mwe batabaalira, Yowaabu n'akulembera eggye ery'amaanyi, n'azinda ensi y'abaana ba Amoni, n'azingiza ekibuga Labba. Kyokka kabaka Dawudi n'asigala e Yerusaalemi. Yowaabu n'amenya Labba, n'akizikiriza.
2
Awo Dawudi n'aggya engule ya kabaka waabwe ku mutwe gwe, obuzito bwayo talanta ya zaabu, era nga mulimu amayinja ag'omuwendo omungi; ne bagiteeka ku mutwe gwa Dawudi: ne banyaga omunyago mungi nnyo mu kibuga.
3
Abantu abaali omwo n'abaggyamu, n'abakozesa emirimu nga bakozesa: emisumeeno, ensuuluulu, n'embazzi. Era bw'atyo Dawudi bwe yakola abantu mu bibuga byonna eby'abaana ba Amoni. Dawudi n'abantu bonna ne baddayo e Yerusaalemi.
4
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne waba entalo e Gezeri wakati w'Abaisiraeri n'Abafirisuuti: Sibbekayi Omukusasi n'atta Sippayi ow'oku baana b'erintu liri eriwagguufu: Abafirisuuti ne bawangulwa.
5
Ne waba nate entalo n'Abafirisuuti; Erukanani mutabani wa Yayiri n'atta Lakami muganda wa Goliyaasi Omugitti, olunyago olw'effumu lye lwali lwenkana ng'omuti ogulukirwako engoye.
6
Ne waba nate entalo e Gaasi, eyali omusajja omuwanvu ennyo, nga engalo ze n'obugere bwe bwali abiri mu buna (24), buli mukono kwaliko engalo mukaaga (6), na buli kigere kwaliko obugere mukaaga (6) era naye yazaalirwa erintu eryo.
7
Awo bwe yasoomoza Isiraeri, Yonasaani mutabani wa Simeeya muganda wa Dawudi n'amutta.
8
Abo bonna abaazaalirwa erintu eryo e Gaasi; ne battibwa Dawudi n'abaddu be.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes