1
Dawudi n'abakulira eby'okusinza ne balonda ku batabani ba Asafu n'aba Hemani n'aba Yedutuuni ab'okulangiriranga obubaka bwa Mukama nga bayimbira ku nnanga n'entongooli n'ebitaasa. Abaalondebwa okukola omulimu ogwo be bano:
2
ku batabani ba Asafu: Zakkuri, ne Yosefu, ne Netaniya, ne Asareela. Asafu ye yakulemberanga batabani be abo, ne balangiriranga obubaka bwa Mukama nga bayimba, nga Kabaka alagidde.
3
Ku ba Yedutuuni, batabani be mukaaga: Gedaliya ne Zeri, ne Yesaaya, ne Simeeyi, ne Hasabiya ne Mattitiya. Nga bakulemberwa kitaabwe oyo Yedutuuni, baalangiriranga obubaka bwa Mukama nga bayimba ennyimba ez'okumwebaza n'okumutendereza, nga bakubirako n'ennanga.
4
Ku ba Hemani, batabani be: Bukkiya, Mattaniya, Wuzziyeeli, Sebweli, ne Yerimooti, Hananiya, Hanani, Eliyaata, Giddaluti, Romamutiyezeri, Yosubekasa, Malloti, Hotiri, Mahaziyooti.
5
Abo bonna baali batabani ba Hemani abamuweesa ekitiibwa. Hemani oyo ye yali omuwabuzi wa kabaka mu bifa ku Katonda. Katonda yawa Hemani oyo abaana ab'obulenzi kkumi na bana, n'aboobuwala basatu.
6
Abo bonna baakulemberwanga kitaabwe mu nnyimba ez'omu Ssinzizo lya Mukama nga bakuba ebitaasa n'entongooli n'ennanga mu mikolo egy'okusinza Katonda, nga kabaka bwe yabanga alagidde Asafu, Yedutuuni ne Hemani.
7
Abo bonna wamu ne Baleevi bannaabwe abaali batendekeddwa mu kuyimbira Mukama, bonna awamu abaali bakuguse, baali ebikumi bibiri mu kinaana mu munaana.
8
Bonna abakulu n'abato, abakugu n'abayiga, bakubirwanga bululu okulondebwa okuweebwa emirimu.
9
Akalulu akasooka, ku ba Asafu, kaalonda Yosefu. Akookubiri ne kalonda Gedaliya. Ye ne baganda be ne batabani be, baali kkumi na babiri.
10
Akookusatu ne kalonda Zakkuri ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri.
11
Akookuna kaalonda Yizuri ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri.
12
Akookutaano ne kalonda Netaniya ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri.
13
Ak'omukaaga ne kalonda Bukkiya ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri.
14
Ak'omusanvu kaalonda Yesareela ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri.
15
Ak'omunaana ne kalonda Yesaaya ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri.
16
Ak'omwenda kalonda Mattaniya ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri.
17
Ak'ekkumi ne kalonda Simeeyi ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri.
18
Ak'ekkumi n'akamu kaalonda Azareeli ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri.
19
Ak'ekkumi n'obubiri ne kalonda Hasabiya ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri.
20
Ak'ekkumi n'obusatu kaalonda Subayeeli ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri,
21
ak'ekkumi n'obuna ne kalonda Mattitiya ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri.
22
Ak'ekkumi n'obutaano kaalonda Yeremooti ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri,
23
ak'ekkumi n'omukaaga ne kalonda Hananiya ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri.
24
Ak'ekkumi n'omusanvu kaalonda Yesubekasa ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri,
25
ak'ekkumi n'omunaana ne kalonda Hanani ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri.
26
Ak'ekkumi n'omwenda kaalonda Malloti ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri,
27
ak'amakumi abiri ne kalonda Eliyaata ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri.
28
Ak'amakumi abiri mu kamu kaalonda Hotiri ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri,
29
ak'amakumi abiri mu bubiri ne kalonda Giddaluti ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri.
30
Ak'amakumi abiri mu busatu ne kalonda Mahaziyooti ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri.
31
Ak'amakumi abiri mu buna ne kalonda Romamutiyezeri ne batabani be ne baganda be, bonna wamu kkumi na babiri.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.