Luganda Bible
|
| 1 |
| Era bano be baali batabani ba Dawudi, abaamuzaalirwa e Kebbulooni: omubereberye Amunoni, omwana wa Akinoamu Omuyezuleeri; ow'okubiri Danyeri, omwana wa Abbigayiri Omukalumeeri; |
| 2 |
| ow'okusatu, Abusaalomu, omwana wa Maaka muwala wa Talumayi kabaka w'e Gesuli; ow'okuna Adoniya omwana wa Kaggisi; |
| 3 |
| ow'okutaano Sefatiya, omwana wa Abitali; ow'omukaaga Isuleyamu, gwe yazaala mu Eggulaasi mukazi we. |
| 4 |
| Yazaalirwa abaana mukaaga e Kebbulooni; era yafugira eyo emyaka musanvu ko emyezi mukaaga: ne mu Yerusaalemi n'afugira emyaka amakumi asatu mu esatu. |
| 5 |
| Era bano be baamuzaalirwa mu Yerusaalemi: Simeeya, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani, bana, abaana ba Basusuwa muwala wa Ammiyeri: |
| 6 |
| ne Ibukali, ne Erisaama, ne Erifereti; |
| 7 |
| ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya; |
| 8 |
| ne Erisaama, ne Eriyada, ne Erifereti, mwenda. |
| 9 |
| Abo bonna baali batabani ba Dawudi, obutassaako baana ba bazaana; era Tamali yali mwannyinnaabwe. |
| 10 |
| Ne Lekobowaamu ye yali mutabani wa Sulemaani, mutabaai we Abiya, mutabani we Asa, mutabani we Yekosafaati; |
| 11 |
| mutabani we Yolaamu, mutabani we Akaziya, mutabani we Yowaasi; |
| 12 |
| mutabani we Amaziya, mutabani we Azaliya, mutabani we Yosamu; |
| 13 |
| mutabani we Akazi, mutabani we Keezeekiya, mutabani we Manase; |
| 14 |
| mutabani we Amoni, mutabani we Yosiya. |
| 15 |
| Ne batabani ba Yosiya; omubereberye Yokanani, ow'okubiri Yekoyakimu, ow'okusatu Zeddekiya, ow'okuna Sallumu. |
| 16 |
| Ne batabani ba Yekoyakimu: Yekoniya mutabani we, Zeddekiya mutabani we. |
| 17 |
| Ne batabani ba Yekoniya omusibe; Seyalutyeri mutabani we, |
| 18 |
| ne Malukiramu, ne Pedaya, ne Senazzali, Yekamiya, Kosama, ne Nedabiya. |
| 19 |
| Ne batabani ba Pedaya; Zerubbaberi, ne Simeeyi: ne batabani ba Zerubbaberi; Mesullamu, ne Kananiya; ne Seromisi yali mwannyinaabwe: |
| 20 |
| ne Kasuba, ne Okeri, ne Berekiya, ne Kasadiya; Yusabukesedi, bataano. |
| 21 |
| Ne batabani ba Kananiya; Peratiya, ne Yesukaya: batabani ba Lefaya, batabani ba Alunani, batabani ba Obadiya, batabani ba Sekaniya. |
| 22 |
| Ne batabani ba Sekaniya; Semaaya: ne batabani ba Semaaya; Kattusi, ne Igali, ne Baliya, ne Neyaliya, ne Safati, mukaaga. |
| 23 |
| Ne batabani ba Neyaliya; Eriwenayi, ne Kizukiya, ne Azulikamu, basatu. |
| 24 |
| Ne batabani ba Eriwenayi; Kodaviya, ne Eriyasibu, ne Peraya, ne Akkubu, ne Yokanani, ne Deraya, ne Anani, musanvu. |
|
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/1chronicles/003.mp3
29
3