Awo ku mirembe gya Sawulo ne balwana n’abakaguli, ne battibwa n'omukono gwabwe ne babeeranga mu weema zaabwe okubuna ensi yonna eri ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Gireyaadi.
Abo be baali batabani ba Abikayiri mutabani wa Kuuli, mutabani wa Yalowa, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Mikayiri, mutabani wa Yesisayi, mutabani wa Yakudo, mutabani wa Buzi; Abo be baali batabani ba Abikayiri mutabani wa Kuuli, mutabani wa Yalowa, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Mikayiri, mutabani wa Yesisayi, mutabani wa Yakudo, mutabani wa Buzi;
Ne bayambwa nga balwana nabo, Abakaguli ne bagabulwa mu mukono gwabwe ne bonna abaali nabo: kubanga baakaabirira Katonda mu lutalo, n'akkiriza okwegayirira kwabwe; kubanga baamwesiga.
Ne banyaga ebisibo byabwe; ku ŋŋamira zaabwe obukumi butaano, ne ku ndiga obusiriivu bubiri mu obukumi butaano, ne ku ndogoyi enkumi bbiri, ne ku bantu kasiriivu.
Era bano be baali emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe; Eferi, ne Isi, ne Eryeri, ne Azulyeri, ne Yeremiya, ne Kodaviya, ne Yakudyeri, abasajja ab'amaanyi abazira, abaatiikirivu, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe.