Bano be batabani ba Rewubeeni omuggulanda wa Yisirayeli. Newaakubadde Rewubeeni ono ye yali omuggulanda, kyokka olw'okwebaka ne muka kitaawe, omugabo gwe ogw'obuggulanda gwamuggyibwako, ne guweebwa batabani ba Yosefu era mutabani wa Yisirayeli. N'olwekyo enkalala z'obuzaale zaawandiikibwa nga tezigoberera buggulanda.
ne Bela mutabani wa Azazi, Azazi mutabani wa Sema, Sema mutabani wa Yoweeli. Abasibuka mu Yoweeli oyo, baabeeranga mu Aroweri okutuuka e Nebo n'e Baali Mewooni.
Mu mulembe gwa Kabaka Sawulo, Abarewubeeni ne balwanyisa Abahagari mu lutalo, ne babatta, ne babeeranga mu weema zaabwe mu kitundu kyonna ekiri ku ludda lw'ebuvanjuba bwa Gileyaadi.
Abo be baali batabani ba Abihayili mutabani wa Huuri, Huuri mutabani wa Yarowa, Yarowa mutabani wa Gileyaadi, Gileyaadi mutabani wa Mikayeli, Mikayeli mutabani wa Yesisaayi, Yesisaayi mutabani wa Yahudo, Yahudo mutabani wa Bbuuzi.
Abo bonna baawandiikibwa mu nkalala z'obuzaale mu mulembe gwa Yotamu kabaka wa Buyudaaya, ne mu mulembe gwa Yerobowaamu Owookubiri kabaka wa Yisirayeli.
Ekika kya Rewubeeni n'ekya Gaadi, n'ekimu ekyokubiri eky'Ekika kya Manasse, byonna awamu byalina abaserikale emitwalo ena mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga, abasajja abazira era abamanyirivu mu kukozesa engabo, n'ebitala n'obusaale, era abatendeke obulungi mu kulwana entalo.
Ab'Ekimu ekyokubiri eky'Abamanasse ne beeyongera obungi, ne babeeranga mu kitundu ky'ensi eyo okuva e Basani okutuuka e Baali Herumooni ne Seniri ne ku Lusozi Herumooni.
Bano be baali abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe: Eferi, ne Yiisi, ne Eliyeeli, ne Azuriyeeli, ne Yeremiya, ne Hoodaviya, ne Yahudiyeeli. Abo bonna baali basajja bazira era abamanyifu ennyo.
Awo abantu ne bataba beesigwa eri Katonda wa bajjajjaabwe, ne bamuvaako ne basinzanga balubaale b'abannansi Katonda be yagoba mu nsi omwo nga bo Abayisirayeli batuuka.