Bano be batabani ba Lewubeeni omubereberye wa Isiraeri. Newakubadde Lewubeeni ono ye yali omubereberye, kyokka olw'okwebaka ne muka kitaawe, omugabo gwe ogw'okuba omubereberye gwamuggyibwako, ne guweebwa batabani ba Yusufu mutabani wa Isiraeri. N'olwekyo ennyiriri z'obuzaale zaawandiikibwa nga tezigoberera eyasooka okuzaalibwa.
ne Bera mutabani wa Azazi, Azazi mutabani wa Sema, Sema mutabani wa Yoweeri. Abasibuka mu Yoweeri oyo, baabeeranga mu Aloweri, okutuuka e Nebo ne Baalumyoni.
Mu mulembe gwa Sawulo, Abalewubeeni ne balwanyisa Abakaguli mu lutalo, ne babatta, ne babeeranga mu weema zaabwe mu kitundu kyonna ekiri ku ludda lw'ebuvanjuba bwa Gireyaadi.
Abo be baali batabani ba Abikayiri mutabani wa Kuuli, Kuuli mutabani wa Yalowa, Yalowa mutabani wa Gireyaadi, Gireyaadi mutabani wa Mikayiri, Mikayiri mutabani wa Yesisayi, Yesisayi mutabani wa Yakudo, Yakudo mutabani wa Buzi.
Ekitundu eky'ekika kya Manase ekyabeeranga obuvanjuba ne beeyongera obungi, ne babeeranga mu kitundu ky'ensi eyo okuva ku Basani okutuuka ku Baalukerumooni ne Seniri n'olusozi Kerumooni.
Era bano be baali emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe; Eferi, Isi, Eryeri, Azulyeri, Yeremiya, Kodaviya ne Yakudyeri, abasajja ab'amaanyi abazira, abaatiikirivu nga gy'emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe.
Katonda wa Isiraeri n'atabangula Puli kabaka w'e Bwasuli era ye Tirugasupiruneseri, n'abalumba, n'aggyayo ekika kya Lewubeeni, n'ekya Gaadi n'ekitundu ku kika kya Manase n'abatwala e Kala ne Kaboli, ne Kaala, n'eri omugga Gozani, ne leero.