ne Ibuneya mutabani wa Yerokamu, ne Era mutabani wa Uzzi, mutabani wa Mikuli, ne Mesullamu mutabani wa Sefatiya, mutabani wa Leweri, mutabani wa Ibuniya;
ne baganda baabwe ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, lwenda mu ataano mu mukaaga. Abasajja abo bonna nga mitwe gya nnyumba za bajjajjaabwe, ng'ennyumba za bajjajjaabwe bwe zaali.
ne Azaliya mutabani wa Kirukiya, mutabani wa Mesulamu, mutabani wa Zadooki, mutabani wa Merayoosi, mutabani wa Akituubu, omukulu w'ennyumba ya Katonda;
ne Adaaya mutabani wa Yerokamu, mutabani wa Pasukuli, mutabani wa Malukiya, ne Maasayi mutabani wa Adyeri, mutabani wa Yazera, mutabani wa Mesullamu, mutabani wa Mesiremisi, mutabani wa Immeri;
ne baganda baabwe emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe, lukumi mu lusanvu mu nkaaga; abasajja abaayinziza ddala omulimu ogw'okuweereza mu nnyumba ya Katonda.
ne Obadiya mutabani wa Semaaya, mutabani wa Galali, mutabani wa Yedusuni, ne Berekiya mutabani wa Asa, mutabani wa Erukaana, eyabeeranga mu byalo eby'Abanetofa.
Ne Sallumu mutabani wa Koole, mutabani wa Ebiyasaafu, mutabani wa Koola, ne baganda be ab'omu nnyumba ya kitaawe, Abakoola, be baalabirira omulimu ogw'okuweereza, abaggazi b'enzigi z'eweema: ne bajjajjaabwe be baabanga abakulu b'olusiisira lwa Mukama, abaggazi b'omulyango;
Era abamu ku bo ne balagirwa okulabirira ebikoza emirimu n'ebintu byonna eby'omu watukuvu, n'obutta obulungi, n'omwenge, n'amafuta, n'omugavu, n'eby'akaloosa.
Era bano be bayimbi, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe ez'Abaleevi, abaasula mu nju era abaasonyiyibwa okuweereza okulala: kubanga baakolanga omulimu gwabwe emisana n'ekiro.
Azeri n'azaala batabani be mukaaga, amanya gaabwe gaagano; Azulikamu, Bokeru, ne Isimaeri, ne Seyaliya, ne Obadiya, ne Kanani: abo be baali batabani ba Azeri.