Awo Sulemaani n'ekibiina kyonna wamu naye ne bagenda mu kifo ekigulumivu ekyali e Gibyoni; kubanga eyo ye yali eweema ya Katonda ey'okusisinkanirangamu, Musa omuddu wa Mukama gye yakola mu ddungu.
Naye essanduuko ya Katonda Dawudi yali agirinnyisizza n'agiggya e Kiriyasuyalimu n'agireeta mu kifo Dawudi kye yagitegekera: kubanga yali agikubidde eweema e Yerusaalemi.
Era nate ekyoto eky'ekikomo Bezaaleri mutabani wa Uli mutabani wa Kuuli kye yakola kyali eyo mu maaso g'eweema ya Mukama: Sulemaani n'ekibiina ne bagendanga gye kiri.
Awo Sulemaani n'ava ku lugendo lwe n'ajja eri ekifo ekigulumivu ekyali e Gibyoni, ng'ava mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ajja e Yerusaalemi; n'afuga Isiraeri.
Sulemaani n'akuŋŋaanya amagaali n'abeebagala embalaasi: era yalina amagaali lukumi mu bina n'abeebagala embalaasi kakumi mu enkumi bbiri, be yateeka mu bibuga eby'amagaali n'awali kabaka e Yerusaalemi.
Era eggaali baalikimanga nga baliggya mu Misiri nga lijjirira (sekeri) lukaaga eza ffeeza, n'embalaasi ng'ejjirira kikumi mu ataano; era bassekabaka bonna ab'Abakiiti bwe batyo ne bassekabaka ab'e Busuuli, baaziggyangamu mu mukono gwabwe.