Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo Solomooni mutabani wa Dawudi, n'anywezebwa mu bwakabaka bwe, era Mukama Katonda we n'amufuula waakitiibwa nnyo. |
| 2 |
| Solomooni n'ayogera n'Abayisirayeli bonna: abaami abatwala abantu olukumi lukumi, n'abatwala ekikumi kikumi; abalamuzi, abakulu b'empya, n'abakulembeze bonna mu Yisirayeli. |
| 3 |
| N'agenda n'abantu abo bonna mu kifo ekigulumivu eky'e Gibiyoni, kubanga eyo ye waali Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, Musa omuweereza wa Mukama gye yakolera mu ddungu. |
| 4 |
| Naye Essanduuko ey'Endagaano yali mu Yerusaalemu, ng'eteekeddwa mu Weema, Dawudi gye yagisimbira, bwe yagiggya mu Kiriyati Yeyariimu. |
| 5 |
| Alutaari ey'ekikomo eyakolebwa Bezaleeli, mutabani wa Wuri, muzzukulu wa Huuri, nayo yali mu Gibiyoni, mu maaso ga Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama. |
| 6 |
| Solomooni n'asinza Mukama ng'awaayo ebitambiro bya nsolo lukumi, ezattibwa ne zookebwa ku alutaari eyo ey'ekikomo. |
| 7 |
| Ekiro ekyo, Katonda n'alabikira Solomooni mu kirooto, n'amugamba nti: “Nsaba ky'oyagala, nkikuwe.” |
| 8 |
| Solomooni n'agamba Katonda nti: “Wayagala nnyo kitange Dawudi, era kaakano onzikirizza okumusikira ku bwakabaka. |
| 9 |
| Kale ayi Mukama Katonda, tuukiriza kye wasuubiza kitange. Onfudde Kabaka w'abantu abali ng'enfuufu ey'oku nsi obungi. |
| 10 |
| N'olwekyo, nkusaba ompe amagezi n'okumanya, nsobole okukulembera abantu bano. Kale ani ayinza okulamula eggwanga lino ekkulu bwe lityo?” |
| 11 |
| Katonda n'agamba Solomooni nti: “Ekyo ky'olowoozezza kirungi, obuteesabira bugagga oba ebintu, kitiibwa wadde okuzikiriza abalabe bo, era obuteesabira kuwangaala, naye n'osaba amagezi n'okumanya, osobolenga okulamula abantu bange, be nkuwadde obeere kabaka waabwe. |
| 12 |
| Kale amagezi n'okumanya mbikuwadde. Era nja kukuwa n'obugagga n'ebintu n'ekitiibwa, ebitafunibwanga kabaka mulala mu baakusooka, era ebitalifunibwa mulala mu balikuddirira.” |
| 13 |
| Awo Solomooni n'ava e Gibiyoni awali Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'akomawo mu Yerusaalemu, n'afugira eyo Yisirayeli. |
| 14 |
| N'akuŋŋaanya amagaali lukumi mu bina n'abaserikale abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, n'abateeka mu bibuga ebirimu amagaali, ne mu Yerusaalemu, ye yennyini mwe yali. |
| 15 |
| Mu biseera bye, ffeeza ne zaabu byayala mu Yerusaalemu, ne biba bingi ng'amayinja. N'emivule ne giba mingi ng'emisikamoreya mu biwonvu bya Buyudaaya. |
| 16 |
| Embalaasi Solomooni ze yalina, baaziggyanga mu Misiri ne Kilikiya. Abasuubuzi, baazigulanga Kilikiya, ng'ebbeeyi yaazo bwe yali. |
| 17 |
| Amagaali baagaggyanga mu Misiri, nga buli kigaali kigula ebitundu lukaaga ebya ffeeza, ate embalaasi ng'egula ebitundu kikumi mu ataano ebya ffeeza. Abasuubuzi baazireetanga, ne baziguza bakabaka b'Abahiiti n'ab'Abassiriya. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/2chronicles/001.mp3
36
1