Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo Rehobowaamu n'agenda e Sekemu, Abayisirayeli bonna gye baali bakuŋŋaanidde okumufuula kabaka. |
| 2 |
| Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, eyali adduse Solomooni n'agenda mu Misiri, bwe yakiwulira n'akomawo. |
| 3 |
| Ne bamutumya ajje. Bwe yajja, ye n'Abayisirayeli bonna ne bagenda ne bagamba Rehobowaamu nti: |
| 4 |
| “Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekizito. Ggwe bw'onootuwewulira ku buzito obwo, n'otukendeereza ku kikoligo ekyo, tunaakuweerezanga.” |
| 5 |
| Rehobowaamu n'abagamba nti: “Mukomeewo mundabe nga wayiseewo ennaku ssatu.” Abantu ne bagenda. |
| 6 |
| Kabaka Rehobowaamu ne yeebuuza ku bantu abakulu, abaawanga Solomooni kitaawe amagezi ng'akyali mulamu. N'ababuuza nti: “Magezi ki ge mumpa? Abantu bano mbaddemu ntya?” |
| 7 |
| Ne bamuddamu nti: “Abantu bano bw'onoobakwasa ekisa n'obasanyusa era n'obagamba ebigambo ebirungi, olwo banaabanga baweereza bo ennaku zonna.” |
| 8 |
| Kyokka n'aleka amagezi g'abantu abakulu ge baamuwa, ne yeebuuza ku bavubuka abaakula naye, era abaali bamuweereza. |
| 9 |
| N'ababuuza nti: “Magezi ki ge mumpa mmwe? Nziremu ntya abantu abaŋŋambye nti: ‘Wewula ku kikoligo kitaawo kye yatuteekako?’ ” |
| 10 |
| Awo abavubuka abaakula naye, ne bamugamba nti: “Abantu abo abakugambye nti kitaawo yabateekangako ekikoligo ekizito, naye ggwe okibawewuleko, bagambe nti: ‘Akagalo kange aka nasswi, kanene okusinga ekiwato kya kitange. |
| 11 |
| Kale nno oba nga kitange yabassaako ekikoligo ekizito, nze nja kukyongerako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na mbooko eyaabulijjo, naye nze nja kubakangavvulanga na mbooko eriko amalobo agasuna.’ ” |
| 12 |
| Ku lunaku olwokusatu, Yerobowaamu n'abantu bonna ne bajja eri Kabaka Rehobowaamu, nga bwe yali abalagidde okudda gy'ali ku lunaku olwokusatu. |
| 13 |
| Awo kabaka Rehobowaamu n'abaddamu n'ebboggo, ng'avudde ku kiri abantu abakulu kye baamuwabulamu. |
| 14 |
| N'akolera ku magezi, abavubuka ge baamuwa, n'agamba abantu nti: “Kitange yabateekako ekikoligo ekizito, naye nze nja kukyongerako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na mbooko eyaabulijjo. Naye nze nja kubakangavvula na mbooko eriko amalobo agasuna.” |
| 15 |
| Bw'atyo kabaka n'atawuliriza bantu kye baagala. Kubanga Mukama Katonda ekyo kye yayagala, alyoke atuukirize kye yagamba Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, ng'ayita mu Ahiya Omusiilo. |
| 16 |
| Abayisirayeli bonna bwe baalaba nga Kabaka tabawulirizza, ne bamuddamu nti: “Kiki kye tweguya ku Dawudi? Ddala mutabani wa Yesse agenda kutuwa ki? Kale Abayisirayeli, tugende. Buli muntu yeddireyo ewaabwe, n'ab'ennyumba ya Dawudi beerabirire!” Awo Abayisirayeli bonna ne baddayo ewaabwe. |
| 17 |
| Rehobowaamu n'afuga Abayisirayeli abo bokka ab'omu kitundu kya Buyudaaya. |
| 18 |
| Awo Kabaka Rehobowaamu n'atuma mu Bayisirayeli Haduraamu eyali akulira emirimu egy'obuwaze. Ne bamukuba amayinja ne bamutta. Kabaka Rehobowaamu n'ayanguwa okwesogga ekigaali kye, n'addukira e Yerusaalemu. |
| 19 |
| Okuva olwo Abayisirayeli ab'omu bitundu eby'omu bukiikakkono, ne bajeemera ab'ennyumba ya Dawudi n'okutuusa kati. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/2chronicles/010.mp3
36
10