Luganda Bible
|
| 1 |
| Awo Lekobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemi, n'akuŋŋaanya ennyumba ya Yuda ne Benyamini, abasajja abalonde kasiriivu mu obukumi munaana, abalwanyi, okulwana n'ennyumba ya Isiraeri, okumuddiza nate obwakabaka Lekobowaamu. |
| 2 |
| Naye ekigambo kya Mukama ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nga kyogera nti |
| 3 |
| Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka lwa Yuda, ne Isiraeri yenna mu Yuda ne Benyamini, ng'oyogera nti |
| 4 |
| Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Temwambuka so temulwana ne baganda bammwe: muddeeyo buli muntu mu nnyumba ye; kubanga ekigambo kino kyava gye ndi. Awo ne bawulira ebigambo bya Mukama ne baddayo ne baleka okutabaala Yerobowaamu. |
| 5 |
| Awo Lekobowaamu n'abeera mu Yerusaalemi n'azimba ebibuga mu Yuda okuba ebigo. |
| 6 |
| N'azimba Besirekemu ne Etamu ne Tekowa |
| 7 |
| ne Besuzuli ne Soko ne Adulamu |
| 8 |
| ne Gaasi ne Malesa ne Zifu, |
| 9 |
| ne Adorayimu ne Lakisi ne Azeka |
| 10 |
| ne Zola ne Ayalooni ne Kebbulooni, ebiri mu Yuda ne mu Benyamini, ebibuga ebiriko enkomera. |
| 11 |
| Ebigo n'abizimbako enkomera, n'abiteekamu abaami n'emmere ey'okuterekebwa n'amafuta n'omwenge. |
| 12 |
| Ne mu buli kibuga kinnakimu n'ateekamu engabo n'amafumu, n'abinyweza nnyo nnyini. Yuda ne Benyamini ne baba babe. |
| 13 |
| Bakabona n'Abaleevi abaali mu Isiraeri yonna ne bagendanga gy'ali okuva mu nsalo zaabwe zonna. |
| 14 |
| Kubanga Abaleevi baaleka ebyalo byabwe eby'oku bibuga n'obutaka bwabwe ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi: kubanga Yerobowaamu ne batabani be baabagoba baleme okuweererezanga mu bwakabona bwabwe eri Mukama: |
| 15 |
| ne yeetekerawo bakabona ab'ebifo ebigulumivu n'ab'embuzi ennume n'ab'ennyana ze yakola. |
| 16 |
| Awo ne babagoberera bonna abaateeka emitima gyabwe okunoonya Mukama Katonda wa Isiraeri ab'omu bika byonna ebya Isiraeri, ne bajja e Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. |
| 17 |
| Bwe batyo ne banyweza obwakabaka bwa Yuda, ne bamunywereza emyaka esatu Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani: kubanga baatambulira emyaka esatu mu kkubo lya Dawudi ne Sulemaani. |
| 18 |
| Awo Lekobowaamu n'afumbirwa omukazi Makalasi muwala wa Yerimosi mutabani wa Dawudi, era owa Abikayiri muwala wa Eriyaabu mutabani wa Yese; |
| 19 |
| n'amuzaalira abaana ab'obulenzi; Yewusi ne Semaliya ne Zakamu. |
| 20 |
| Oluvannyuma lwe n'afumbirwa Maaka muwala wa Abusaalomu; oyo n'amuzaalira Abiya ne Attayi ne Ziza ne Seromisi. |
| 21 |
| Lekobowaamu n'ayagala Maaka muwala wa Abusaalomu okukira bakazi be bonna n'abazaana be bonna; (kubanga yawasa abakazi kkumi na munaana n'abazaana nkaaga, n'azaala abaana ab'obulenzi amakumi abiri mu munaana n'ab'o buwala nkaaga). |
| 22 |
| Lekobowaamu n'assaawo Abiya mutabani wa Maaka okuba omukulu, asinga baganda be obukulu: kubanga yayagala okumufuula kabaka. |
| 23 |
| N'akola eby'amagezi, n'asaasaanya batabani be bonna mu nsi zonna eza Yuda ne Benyamini, mu buli kibuga ekiriko olukomera: n'abawa ebyokulya bingi nnyo. N'abanoonyeza abakazi bangi. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/2chronicles/011.mp3
36
11