Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo Rehobowaamu bwe yamala okwenyweza ku bwakabaka, n'aba wa maanyi, ye wamu n'Abayisirayeli bonna ne bava ku Mateeka ga Mukama. |
| 2 |
| Olw'okuba nga baajeemera Mukama, mu mwaka ogwokutaano ogwa Kabaka Rehobowaamu, Sisaki Kabaka wa Misiri n'alumba Yerusaalemu, |
| 3 |
| ng'alina eggye eryalimu amagaali lukumi mu bibiri, n'abeebagazi b'embalaasi emitwalo mukaaga, n'abaserikale abalala abatabalika: Abalibiya, Abasukimu, n'Abeetiyopiya. |
| 4 |
| N'awamba ebibuga ebiriko ebigo ebigumu mu Buyudaaya, n'atuuka e Yerusaalemu. |
| 5 |
| Awo Semaaya omulanzi n'ajja eri Rehobowaamu n'eri abakungu ba Buyudaaya abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemu okudduka Sisaki. N'abagamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Munvuddeko, nange kyenvudde mbawaayo eri Sisaki.’ ” |
| 6 |
| Kabaka n'abakungu ba Yisirayeli ne beetoowaza, ne bagamba nti: “Mukama mutuufu.” |
| 7 |
| Mukama bwe yalaba nga beetoowazizza, n'agamba Semaaya nti: “Nga bwe beetoowazizza, sijja kubazikiriza, naye nja kubaddiramu. Obusungu bwange sijja kubumalira ku Yerusaalemu, nga Sisaki akirumbye. |
| 8 |
| Wabula baliba baweereza be, balyoke balabe enjawulo mu kuweereza nze, n'okuweereza bakabaka ab'ensi.” |
| 9 |
| Awo Sisaki, Kabaka wa Misiri n'ajja, n'alumba Yerusaalemu, n'anyaga ebyobugagga byonna eby'omu Ssinzizo n'eby'omu lubiri lwa kabaka, n'abitwala byonna. N'atwaliramu n'engabo eza zaabu, Solomooni ze yali akoze. |
| 10 |
| Kabaka Rehobowaamu n'akola engabo ez'ekikomo okudda mu kifo kya ziri n'azikwasa abakulu b'abakuumi b'emiryango gy'olubiri. |
| 11 |
| Kabaka buli lwe yabanga agenda okuyingira mu Ssinzizo, bajjanga ne bazikwata, oluvannyuma ne bazizzaayo mu kisenge ky'abakuumi. |
| 12 |
| Rehobowaamu bwe yeetoowaza, Mukama n'atamusunguwalira kumuzikiriza, ne Buyudaaya, ebintu ne bigigendera bulungi. |
| 13 |
| Bw'atyo Rehobowaamu ne yenyweza mu Yerusaalemu, n'afuga. Yali wa myaka amakumi ana mu gumu we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemu, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu nsi ya Yisirayeli yonna okumusinzizangamu. Nnyina Rehobowaamu, yali Naama Omwammoni. |
| 14 |
| Rehobowaamu yakola bubi, kubanga teyafuba kukola Mukama by'ayagala. |
| 15 |
| Rehobowaamu bye yakola, okuva lwe yatandika okufuga, okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu byaliwo mu biseera bya Semaaya Omulanzi, ne Yiddo Omulanzi. Entalo wakati wa Rehobowaamu ne Yerobowaamu zaabangawo lutata. |
| 16 |
| Rehobowaamu, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Mutabani we Abiya n'amusikira. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/2chronicles/012.mp3
36
12