Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo Yehosafaati n'asikira Asa kitaawe, era ne yeenyweza okulwanyisa Yisirayeli. |
| 2 |
| N'ateeka amagye mu bibuga byonna eby'omu byalo ebya Buyudaaya, ne mu bibuga by'omu Efurayimu, Asa kitaawe bye yawamba. |
| 3 |
| Katonda n'awa Yehosafaati omukisa, kubanga yagoberera empisa ennungi eza kitaawe ezasooka, ez'obutasinzanga balubaale abayitibwa Baali. |
| 4 |
| N'aweerezanga Katonda wa kitaawe, ng'akwata ebiragiro bye n'atagoberera ebyo ab'omu Yisirayeli bye baakolanga. |
| 5 |
| Mukama kyeyava anyweza obwakabaka bwa Yehosafaati, ab'omu Buyudaaya bonna ne baleetera Yehosafaati amakula, n'agaggawala era n'aba wa kitiibwa nnyo. |
| 6 |
| Ne yeenyumiririza mu kuweereza Mukama, era n'aggyawo mu Buyudaaya ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu, n'ebifaananyi bya lubaale Asera. |
| 7 |
| Mu mwaka ogwokusatu ogw'obufuzi bwe, n'atuma abakungu be: Benihayili ne Obadiya, ne Zekariya, ne Netaneeli, ne Mikaaya okuyigiriza mu bibuga bya Buyudaaya. |
| 8 |
| Awamu nabo n'atuma n'Abaleevi Semaaya, Netaniya, Zebadiya, Asaheeli, Semiramoti, Yehonataani, Adoniya, Tobiya, ne Tabadoniya. Awamu n'Abaleevi abo, n'atuma ne bakabona Elisaama ne Yeyoraamu. |
| 9 |
| Ne batwala ekitabo ky'Amateeka ga Mukama, ne bayigiriza ab'omu Buyudaaya. Ne bayitaayita mu bibuga byonna ebya Buyudaaya, nga bayigiriza abantu. |
| 10 |
| Mukama n'akuba entiisa ab'omu bwakabaka bwonna obwetoolodde Buyudaaya, ne batalwanyisa Yehosafaati. |
| 11 |
| Abamu ku Bafilistiya ne baleetera Yehosafaati amakula, ne bamuwa n'omusolo mu ffeeza. Abawarabu nabo ne bamutonera endiga ennume kasanvu mu lusanvu, n'embuzi ennume kasanvu mu lusanvu. |
| 12 |
| Yehosafaati ne yeeyongera okuba ow'obuyinza, n'azimba ebibuga ebiriko ebigo ebigumu, n'ebibuga eby'okuterekangamu ebintu. |
| 13 |
| N'aba n'amawanika mangi mu bibuga bya Buyudaaya. N'ateeka mu Yerusaalemu abaserikale, abasajja ab'amaanyi era abazira, |
| 14 |
| nga batereezeddwa mu bika byabwe. Aduna ye yali akulira banne abaduumira ebibinja by'olukumi lukumi, ab'omu Kika kya Yuda, nga bonna awamu akulira abaserikale ab'amaanyi emitwalo amakumi asatu. |
| 15 |
| Yehohanaati ye yali omuduumizi amuddirira, ng'akulira abaserikale emitwalo amakumi abiri mu munaana. |
| 16 |
| Owookusatu yali Amasiya, mutabani wa Zikuri, ng'akulira abaserikale ab'amaanyi emitwalo amakumi abiri. Amasiya ono, ye yeewaayo yekka okuweereza Mukama. |
| 17 |
| Omuduumizi w'ebibinja by'eggye ly'Ababenyamiini yali Eliyaada, omuserikale omuzira, ng'akulira abaserikale emitwalo amakumi abiri, abalina obusaale n'engabo. |
| 18 |
| Eyali amuddirira mu bukulu, yali Yehozabaadi, ng'akulira abaserikale omutwalo gumu mu kanaana, abategeke obulungi mu by'okulwana. |
| 19 |
| Abo be baaweerezanga kabaka, nga tobaliddeeko abo be yateeka mu bibuga ebyaliko ebigo ebigumu mu Buyudaaya bwonna. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/2chronicles/017.mp3
36
17