Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Yekosafaati mutabani wa Asa n’asikira Asa bw’atyo n’afuuka kabaka, n’okwenyweza ne yeenyweza eri Isirayiri. |
| 2 |
| N’ateeka abaserikale mu bibuga ebiriko bbugwe ebya Yuda, n’ateeka n’eggye mu Yuda, ne mu bibuga ebya Efulayimu, kitaawe Asa bye yali awambye. |
| 3 |
| Mukama n’abeera wamu ne Yekosafaati kubanga mu buto bwe yatambuliranga mu makubo ga jjajjaawe Dawudi ge yatambulirangamu. Teyeebuuza ku Babaali, |
| 4 |
| naye yanoonya Katonda wa kitaawe, era n’agoberera amateeka ge okusinga engeri za Isirayiri. |
| 5 |
| Mukama n’anyweza obwakabaka mu mukono gwe, era Yuda yenna ne baleetera Yekosafaati ebirabo, n’aba n’obugagga bungi n’ekitiibwa kinene. |
| 6 |
| Omutima gwe ne gunywerera mu kkubo lya Mukama, n’okuggyawo n’aggyawo ebifo ebigulumivu n’ebifaananyi bya Baasera mu Yuda. |
| 7 |
| Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwe, n’atuma abakungu be bano: Benikayiri, ne Obadiya, ne Zekkaliya, ne Nesaneeri, ne Mikaaya okugenda nga bayigiriza mu bibuga bya Yuda. |
| 8 |
| Ne wabaawo n’Abaleevi abagenda nabo: Semaaya, ne Nesaniya, ne Zebadiya, ne Asakeri, ne Semiramoosi, ne Yekonasaani, ne Adoniya, ne Tobbiya, ne Tobadoniya, wamu ne Erisaama ne Yekolaamu. |
| 9 |
| Ne bayigiriza mu Yuda yonna, nga bakozesa Ekitabo ekya Mateeka ga Mukama; ne babuna mu bibuga byonna ebya Yuda ne bayigiriza abantu. |
| 10 |
| Awo entiisa ya Mukama n’egwa ku bwakabaka obw’amawanga agaali geetoolodde Yuda, ne batakola ntalo na Yekosafaati. |
| 11 |
| Abamu ku Bafirisuuti ne baleetera Yekosafaati ebirabo, ne ffeeza ng’omusolo, ate Abawalabu ne bamuleetera ebisibo eby’endiga ennume kasanvu mu lusanvu, n’embuzi kasanvu mu lusanvu. |
| 12 |
| Yekosafaati ne yeeyongeranga amaanyi, n’azimba ebigo n’ebibuga eby’amaterekero mu Yuda, |
| 13 |
| n’abeera n’ebyamaguzi bingi ddala mu bibuga bya Yuda. Yalina n’abaserikale abatendeke mu Yerusaalemi nga bazira. |
| 14 |
| Okubalibwa ng’enju za bakitaabwe bwe zaali kwali bwe kuti: Okuva mu Yuda, abaduumizi ab’ebibinja eby’olukumi (1,000) baali: Aduna omuduumizi ow’abasajja abalwanyi emitwalo amakumi asatu (300,000), |
| 15 |
| n’eyamuddiriranga yali Yekokanani omuduumizi ow’abasajja emitwalo amakumi abiri mu munaana (280,000); |
| 16 |
| n’eyamuddiriranga yali Amasiya mutabani wa Zikuli, eyeewaayo obwebange okuweerezanga Mukama, omuduumizi ow’abasajja emitwalo amakumi abiri (200,000). |
| 17 |
| Okuva mu Benyamini: Eriyada, omuserikale omuzira, eyaduumiranga abasajja ab’obusaale n’engabo emitwalo amakumi abiri (200,000), |
| 18 |
| n’eyamuddiriranga ye yali Yekozabadi eyaduumiranga abasajja emitwalo kkumi na munaana abaali beeteeseteese okulwana (180,000). |
| 19 |
| Abo be basajja abaaweerezanga kabaka, obutassaako abo abaali mu bibuga ebyaliko bbugwe n’ebigo okubuna Yuda yonna. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/2chronicles/017.mp3
36
17