Awo Akabu kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati kabaka wa Yuda nti Onoogenda nange e Lamosugireyaadi? Awo n'amuddamu nti Nze ninga ggwe bw'oli, n'abantu bange ng'abantu bo; era (tunaabanga) wamu naawe mu ntalo ezo.
Awo kabaka wa Isiraeri n'akuŋŋaanya bannabbi abasajja ebikumi bina, n'abagamba nti Tutabaale e Lamosugireyaadi nantiki ndekeyo? Ne boogera nti Yambuka; kubanga Katonda alikigabula mu mukono gwa kabaka.
Era kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne batuula buli muntu ku ntebe ye nga bambadde ebyambalo byabwe, nga batudde mu mbuga eri ku mulyango gwa wankaaki w'e Samaliya; bannabbi bonna ne balagula mu maaso gaabwe.
Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana ne yeekolera amayembe ag'ebyuma n'ayogera nti bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olitomera Abasuuli na gano okutuusa lwe balimalibwawo.
Awo bwe yajja eri kabaka, kabaka n'amugamba nti Mikaaya, tutabaale e Lamosugireyaadi nantiki ndekeyo? N'ayogera nti Mwambuke mulabe omukisa; era baligabulwa mu mukono gwammwe.
N'ayogera nti Ndabye Isiraeri yenna ng'asaasaanidde ku nsozi ng'endiga ezitalina musumba: Mukama n'ayogera nti Abo tebalina mukama waabwe: baddeyo buli muntu mu nnyumba ye mirembe.
N'ayogera nti Kale muwulire ekigambo kya Mukama: ndabye Mukama ng'atudde ku ntebe ye n'eggye lyonna ery'omu ggulu nga bayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo ne ku gwa kkono.
Ne gwogera nti Naafuluma ne mbeera omuzimu ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi be bonna. N'ayogera nti Ggwe onoomusendasenda n'okusobola onoosobola: fuluma, okole bw'otyo.
Kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Neefuula ne nnyingira mu lutalo; naye ggwe yambala ebyambalo byo. Awo kabaka wa Isiraeri ne yeefuula ne bayingira mu lutalo.
Olutalo ne lweyongera ku lunaku olwo: naye kabaka wa Isiraeri ne yeekakaabiriza mu ggaali lye okulwana n'Abasuuli, okutuusa akawungeezi: awo enjuba bwe yali ng'egwa n'afa.