Awo Yekosafaati n'abeeranga e Yerusaalemi: n'afuluma nate mu bantu okuva e Beeruseba okutuuka mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, n'abakomyawo eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
Era mu Yerusaalemi Yekosafaati mwe yassa ku Baleevi ne bakabona ne ku mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri olw'okulamula kwa Mukama n'olw'empaka. Ne bakomawo e Yerusaalemi.
Era, laba, Amaliya kabona omukulu yabafuga mu bigambo byonna ebya Mukama; ne Zebadiya mutabani wa Isimaeri, omukulu w'ennyumba ya Yuda, mu bigambo byonna ebya kabaka: era n'Abaleevi banaabanga baami mu maaso gammwe. Mube n'amaanyi mukole, era Mukama ayambenga abakozi b'obulungi.