Laba, nzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange ennyumba okugiwonga eri ye, n'okwotereza mu maaso ge obubaane obw'eby'akaloosa ebiwoomerevu, n'olw'emigaati egitaggwaawo, n'olw'ebiweebwayo ebyokebwa enkya n'akawungeezi, ku ssabbiiti n'emyezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaatekebwawo eza Mukama Katonda waffe. Kino kye kiragiro eky'emirembe gyonna eri Isiraeri.
Kale nno, mpeereza omusajja alina amagezi okukola omulimu ogwa zaabu, ne ffeeza n'ebikomo n'ebyuma, n'olugoye olw'effulungu n'olutwakaavu ne kaniki, era omutegeevu okukola enjola ez'engeri zonna, okuba awamu n'abasajja ab'amagezi abali nange mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Dawudi kitange be yateekateeka.
naffe tulitema emiti ku Lebanooni, nga bw'olyagala obungi: era tuligireeti gy'oli nga tugikulula ku nnyanja ne tugituusa e Yopa; naawe oligirinnyisa e Yerusaalemi.
Awo Sulemaani n'abala bannaggwanga bonna abali mu nsi ya Isiraeri ng'okubala bwe kwali Dawudi kitaawe kwe yababala: ne walabika kasiriivu mu obukumi butaano mu enkumi ssatu mu lukaaga.