Awo mu mwaka ogw'omusanvu, Yehoyaada ne yeevaamu, n'alagaana n'abaduumizi mu magye, abaduumira abaserikale ekikumi kikumi. N'alagaana ne Azariya, mutabani wa Yerohaamu, ne Yisimayeli, mutabani wa Yehohanani, ne Azariya, mutabani wa Obedi ne Maaseya, mutabani wa Adaya, ne Elisafati, mutabani wa Zikuri.
Bonna ne bakuŋŋaanira mu Ssinzizo ne bakola endagaano n'omulangira ow'okulya obwakabaka. Yehoyaada n'abagamba nti: “Omulangira wuuno. Ye aba afuuka kabaka, nga Mukama bwe yasuubiza bazzukulu ba Dawudi.
Abaleevi banaayimirira nga beebunguludde kabaka, buli omu ng'akutte ebyokulwanyisa bye. Buli anaayingira mu Ssinzizo wa kuttibwa. Munaabeera wamu ne kabaka ng'ayingira era ng'afuluma.”
Abantu bonna ne bagenda awali essabo lya Baali, ne balimenyerawo ddala. N'alutaari ze n'ebifaananyi bye ne babimenyaamenya. Ne battira Matani kabona wa Baali mu maaso ga zaalutaari.
Yehoyaada omulimu ogukolebwa mu Ssinzizo n'agukwasa bakabona n'Abaleevi, Dawudi be yateekawo mu Ssinzizo okuwangayo eri Mukama ebiweebwayo ebyokebwa, nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka ga Musa, ekyo bakikolenga nga basanyuka, era nga bayimba, nga Dawudi bwe yalagira.
Awo n'ayita abaduumizi b'abaserikale ekikumi kikumi, n'abakungu, n'abakulembeze b'abantu era ne bannansi bonna, ne baggya kabaka mu Ssinzizo, ne bamutwala mu lubiri, nga bamuyisa mu mulyango ogw'engulu. Ne bamutuuza ku ntebe ey'obwakabaka.