×

Luganda Bible 2003

2 Ebyomumirembe 27

1
Yotamu yatandika okufuga nga wa myaka amakumi abiri mu etaano. N'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Yerusa, muwala wa Zadoki.
2
Yotamu n'akolanga ebirungi ebisanyusa Mukama, nga Wuzziya kitaawe bye yakolanga. Era ye teyayingira na maanyi mu Ssinzizo. Naye bo abantu ne beeyongeranga okukola ebibi.
3
N'azimba Omulyango ogw'Engulu ogw'Essinzizo, era n'akola omulimu munene ku kigo kya Yerusaalemu mu kitundu ekiyitibwa Ofeli.
4
Era n'azimba ebibuga mu nsozi za Buyudaaya, era n'azimba ebigo n'eminaala mu bibira.
5
N'alwanyisa Kabaka w'Abammoni n'amuwangula, Abammoni ne bamuwa mu mwaka ogwo omusolo gwa talanta kikumi eza ffeeza, ensawo omutwalo gumu ez'eŋŋaano n'ensawo omutwalo gumu eza bbaale. Era omusolo ogwenkana awo, gwe baamusasula mu mwaka ogwokubiri, ne mu gwokusatu.
6
Awo Yotamu n'afuuka wa maanyi, kubanga yagondera Mukama Katonda we.
7
Ebirala Yotamu bye yakola, n'entalo zonna ze yalwana, n'enkola ye, byonna byawandiikibwa mu kitabo kya Bassekabaka ba Yisirayeli n'aba Buyudaaya.
8
Yotamu yatandika okufuga nga wa myaka amakumi abiri mu etaano, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemu.
9
N'akisa omukono ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Ahazi mutabani we n'amusikira.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Gaabu Hantumya