×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

2 Ebyomumirembe 27

1
Yosamu yali wa myaka abiri mu etaano (25) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga (16) mu Yerusaalemi. Nnyina yali Yerusa, muwala wa Zadoki.
2
Yosamu n'akolanga ebirungi mu maaso ga Mukama, nga Uzziya kitaawe bye yakolanga, naye obutafaanana nga kitaawe, teyayingira mu Yeekaalu ya Mukama. Abantu bo ne beeyongeranga okukola ebibi.
3
N'azimba Omulyango ogw'Ekyengulu ogw'ennyumba ya Mukama, era n'akola omulimu munene ku bbugwe wa Yerusaalemi ku kitundu ekiyitibwa Oferi.
4
Era n'azimba ebibuga mu bitundu eby'ensozi mu Yuda, ne mu bibira n'azimbamu ebigo n'eminaala.
5
Yosamu n'alwana ne kabaka w'Abamoni n'amuwangula, era omwaka ogwo Abamoni ne bamuwa omusolo gwa talanta kikumi (100) eza ffeeza, n'eŋŋaano ebigero omutwalo gumu (10,000), n'ebya sayiri omutwalo gumu (10,000). Era omusolo bwe gutyo Abamoni era gwe bamusasula mu mwaka ogwokubiri ne mu gw'okusatu.
6
Awo Yosamu n'abeera wa maanyi, kubanga yatambuliranga mu makubo ga Mukama Katonda we.
7
Ebikolwa ebirala byonna ebya Yosamu, n'entalo zonna zeyalwana, ne by'eyakola, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda.
8
Yosamu yali wa myaka abiri mu etaano (25) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga (16) mu Yerusaalemi.
9
Yosamu naafa, ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi. Akazi mutabani we n'amusikira.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes