Era nate n'ayoterezanga obubaane mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, n'ayokera abaana be mu muliro ng'emizizo gy'ab'amawanga bwe gyali Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
Mukama Katonda we kyeyava amugabula mu mukono gwa kabaka w'e Busuuli; ne bamukuba ne batwala ku babe ekibiina kinene eky'abasibe, ne babaleeta e Ddamasiko. Era n'agabulwa mu mukono gwa kabaka wa Isiraeri, n'amukuba olutta lunene.
Kubanga Peka mutabani wa Lemaliya yatta mu Yuda ku lunaku lumu kasiriivu mu obukumi bubiri, bonna basajja bazira; kubanga baali balese Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
Abaana ba Isiraeri ne batwala nga basibe ku baganda baabwe obusiriivu bubiri, abakazi, abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, era ne babaggyako omunyago mungi, ne baleeta omunyago e Samaliya.
Awo abamu ku mitwe gy'abaana ba Efulayimu, Azaliya mutabani wa Yokanani, Berakiya mutabani wa Mesiremosi, ne Yekizukiya mutabani wa Salumu, ne Amasa mutabani wa Kadalayi ne bayimirira okuziyiza abo abaava mu ntalo,
ne babagamba nti Temuyingizanga wano abasibe: kubanga mwagala ekyo ekirituleetako ekyonoono eri Mukama okwongera ku bibi byaffe ne ku kwonoona kwaffe: kubanga okwonoona kwaffe kunene, era waliwo ekiruyi ekikambwe eri Isiraeri.
Abasajja abaatuddwa amannya gaabwe ne bagolokoka ne baddira abasibe, ne bambaza omunyago abo bonna mu bo abaali obwereere mu bo n'omunyago, ne babawa engoye, n'engatto, ne babaliisa ne babanywesa ne babasiiga amafuta, ne basitulira ku ndogoyi bonna ku bo abanafu, ne babatuusa e Yeriko ekibuga eky'enkindu eri baganda baabwe; awo ne balyoka baddayo e Samaliya.
Era n'Abafirisuuti ne batabaala ebibuga eby'omu nsenyi n'eby'omu bukiika obwa ddyo obwa Yuda, ne bamenya Besusemesi ne Ayalooni ne Gederosi ne Soko n'ebibuga byako ne Timuna n'ebibuga byako, Gimuzo nakyo n'ebibuga byako: ne babeeranga omwo.
Kubanga yawaayo ssaddaaka eri bakatonda b'e Ddamasiko abaamukuba: n'ayogera nti Kubanga bakatonda ba bakabaka w'e Busuuli babayamba kyennaava mpaayo ssaddaaka eri bo bannyambe. Naye ne bamuzikiriza ne Isiraeri yenna.
Akazi n'akuŋŋaanya ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda, n'atemaatema ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda, n'aggalawo enzigi z'ennyumba ya Mukama; ne yeekolera ebyoto mu Yerusaalemi mu buli kafo.
Akazi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe ne bamuziika mu kibuga, mu Yerusaalemi; kubanga tebaamuyingiza mu masiro ga bassekabaka ba Isiraeri: Keezeekiya mutabani we n'amuddira mu bigere.