|
| 1 |
|
| Awo Sulemaani n'atanula okuzimba ennyumba ya Mukama Yerusaalemi ku lusozi Moliya, Mukama kwe yalabikirira Dawudi kitaawe, gye yateekateeka mu kifo Dawudi kye yalagira, mu gguuliro lya Olunaani Omuyebusi. |
|
| 2 |
|
| Awo n'atanula okuzimba ku lunaku olw'okubiri olw'omwezi ogw'okubiri mu mwaka ogw'okuna kasookedde alya obwakabaka. |
|
| 3 |
|
| Era gino gye misingi Sulemaani gye yakuba okizimba ennyumba ya Katonda Obuwanvu bwayo mu mikono ng'ekigero eky'olubereberye bwe kyali bwali emikono nkaaga, n'obugazi emikono amakumi abiri. |
|
| 4 |
|
| N'ekisasi ekyali mu maaso g'ennyumba, obuwanvu bwakyo ng'obugazi bw'ennyumba bwe bwali bwali emikono amakumi abiri, n'obugulumivu kikumi mu abiri: n'akibikkako munda zaabu ennongoofu. |
|
| 5 |
|
| N'ennyumba ennene n'agibikkako embaawo ez'emiberosi gye yabikkako zaabu ennongoofu, n'akolako enkindu n'emikuufu. |
|
| 6 |
|
| N'ayonja ennyumba n'amayinja ag'omuwendo omungi olw'obulungi: ne zaabu yali zaabu Eyepaluvayimu. |
|
| 7 |
|
| Era n'ennyumba n'agibikkako zaabu, emiti n'emiryango n'ebisenge byayo n'enzigi zaayo; ne bakerubi ababajje ku bisenge. |
|
| 8 |
|
| N'akola ennyumba entukuvu ennyo; obuwanvu bwayo ng'obugazi bw'ennyumba bwe bwali bwali emikono amakumi abiri, n'obugazi bwayo emikono amakumi abiri: n'agibikkako zaabu ennongoofu, eweza talanta lukaaga. |
|
| 9 |
|
| N'obuzito bw'emisumaali bwali sekeri eza zaabu amakumi ataano. N'abikkako zaabu enju eza waggulu. N'azibikkako zaabu. |
|
| 10 |
|
| Ne mu nnyumba entukuvu ennyo n'akolamu bakerubi babiri ab'omulimu ogw'ebifaananyi; ne bababikkako zaabu. |
|
| 11 |
|
| N'ebiwawaatiro bya bakerubi obuwanvu bwabyo emikono amakumi abiri: n'ekiwawaatiro kya kerubi omu kyali kya mikono etaano, nga kituuka ku kisenge ky'ennyumba; n'ekiwawaatiro eky'okubiri nakyo bwe kityo kya mikono etaano, nga kituuka ku kiwawaatiro kya kerubi munne. |
|
| 12 |
|
| N'ekiwawaatiro kya kerubi munne kyali kya mikono etaano, nga kituuka ku kisenge ky'ennyumba: n'ekiwawaatiro ekirala nakyo kya mikono etaano, nga kyegatta n'ekiwawaatiro kya kerubi munne. |
|
| 13 |
|
| Ebiwawaatiro bya bakerubi abo byebamba emikono amakumi abiri: era baayimirira ku bigere byabwe, n'amaaso gaabwe nga gatunuulira ennyumba. |
|
| 14 |
|
| N'akola eggigi lya kaniki n'olugoye olw'effulungu n'olutwakaavu ne bafuta ennungi, n'alikolako bakerubi. |
|
| 15 |
|
| Era n'akola mu maaso g'ennyumba empagi bbiri, obugulumivu bwazo emikono amakumi asatu mu etaano, n'omutwe ogwali ku zo kinneemu gwali emikono etaano. |
|
| 16 |
|
| N'akola emikuufu awayimibwa okwogera, n'agiteeka ku ntikko z'empagi; n'akola amakomamawanga kikumi n'agateeka ku mikuufu. |
|
| 17 |
|
| N'asimba empagi mu maaso ga yeekaalu, emu ku mukono ogwa ddyo n'ey'okubiri ku gwa kkono; n'atuuma ey'oku mukono ogwa ddyo erinnya lyayo Yakini, n'erinnya ly'ey'oku gwa kkono Bowaazi. |
|
|
|
|