Awo Keezeekiya n'atumira Isiraeri yenna ne Yuda, era n'awandiikira ebbaluwa Efulayimu ne Manase, bajje mu nnyumba ya Mukama mu Yerusaalemi, okukwata Okuyitako eri Mukama Katonda wa Isiraeri.
Kubanga tebaayinza kukukwatira mu biro ebyo, kubanga bakabona baali tebannaba kwetukuza abangi ab'okumala, so n'abantu nga tebannakuŋŋaanira e Yerusaalemi.
Awo ne bassaawo etteeka okulangira okubuna Isiraeri yenna okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, bajje okukwata Okuyitako eri Mukama Katonda wa Isiraeri e Yerusaalemi: kubanga tebaakukwatanga abangi ennyo bwe batyo nga bwe kyawandiikibwa.
Awo ababaka ne bagenda nga balina ebbaluwa ezaava eri kabaka n'abakulu be okubuna Isiraeri yonna ne Yuda, era ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali, nti Mmwe abaana ba Isiraeri, mukyukire nate Mukama Katonda wa Ibulayimu, Isaaka, ne Isiraeri, akomewo eri ekitundu kyammwe ekifisseewo ekiwonye mu mukono gwa bakabaka b'e Bwasuli.
Awo ne balyoka batta Okuyitako ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogw'okubiri: bakabona n'Abaleevi ne bakwatibwa ensonyi, ne beetukuza ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa mu nnyumba ya Mukama.
Ne bayimirira mu kifo kyabwe nga bwe baalagirwa ng'amateeka bwe gali aga Musa omusajja wa Katonda: bakabona na bamansira omusaayi gwe baatoolera mu mukono gw'Abaleevi.
Kubanga ku bantu bangi nnyo nnyini, bangi ku Efulayimu ne Manase, Isakaali ne Zebbulooni, baali tebeetukuzizza, naye ne bamala galya Okuyitako naye si nga bwe kyawandiikibwa. Kubanga Keezeekiya yali abasabidde ng'ayogera nti Mukama ow'ekisa asonyiwe buli muntu
Abaana ba Isiraeri abaali bali awo e Yerusaalemi ne bakwatira embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa ennaku musanvu n'essanyu lingi: Abaleevi ne bakabona ne batendereza Mukama buli lunaku, nga bayimba n'ebintu ebivuga ennyo eri Mukama.
Keezeekiya n'ayogera ebigambo eby'okusanyusa n'Abaleevi bonna abaalina amagezi mu kuweereza Mukama. Awo ne baliira ennaku omusanvu okumala embaga, nga bawaayo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe, era nga baatulira Mukama Katonda wa bajjajaabwe.
Kubanga Keezeekiya kabaka wa Yuda n'awa ekibiina okuba ebiweebwayo ente lukumi n'endiga kasanvu; n'abakulu ne bawa ekibiina, ente lukumi n'endiga kakumi: ne bakabona bangi nnyo ne beetukuza.
Ekibiina kyonna ekya Yuda wamu ne bakabona n'Abaleevi n'ekibiina kyonna ekyava mu Isiraeri n'abagenyi abaava mu nsi ya Isiraeri n'abatuula mu Yuda ne basanyuka.
Awo ne waba essanyu lingi mu Yerusaalemi: kubanga okuva mu biro bya Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka wa Isiraeri tewabangawo ebifaanana ebyo mu Yerusaalemi:
Awo bakabona Abaleevi ne bagolokoka ne basabira abantu omukisa: eddoboozi lyabwe ne liwulirwa, okusaba kwabwe ne kulinnya mu kifo ekitukuvu mw'abeera, mu ggulu.