BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Manasse yafuuka kabaka nga wa myaka kkumi n'ebiri; yafugira mu Yeruzaalemu emyaka amakumi ataano mu etaano. |
| 2 |
| Yakola ekibi mu maaso g'Omukama, ng'okukola ebyenyinyalwa by'amawanga Omukama ge yali agobyewo mu maaso g'Abayisirayeli. |
| 3 |
| Yaddamu n'azimba ebifo ebigulumivu Kezekiya kitaawe bye yali asaanyizzaawo; yassaawo emyaliiro gya Baali, n'akola empagi ya Asera. Yavunnamira eggye lyonna ery'emmunyeenye z'eggulu, n'alisinza. |
| 4 |
| Yazimba emyaliiro mu Kiggwa ky'Omukama Omukama kye yali ayogeddeko nti: “Erinnya lyange liribeera mu Yeruzaalemu emirembe gyonna.” |
| 5 |
| Yazimbira eggye lyonna ery'emmunyeenye z'eggulu emyaliiro mu mpya bbiri ez'Ekiggwa ky'Omukama. |
| 6 |
| Yawonga batabani be mu muliro mu Kiwonvu Beni-Yinnomu; yakolanga eby'obulogo n'okusamira; yasamiranga n'okwebuuza ku mizimu. Yakola ekibi mu maaso g'Omukama n'amunyiiza. |
| 7 |
| Yaddira ekifaananyi kya lubaale kye yali awoze n'akissa mu Kiggwa, Omukama kye yayogerako ng'agamba Dawudi ne Solomoni mutabani we nti: “Mu Kiggwa muno ne mu Yeruzaalemu, ekibuga kye nalonda mu bika byonna ebya Yisirayeli, mwe ndissa erinnya lyange emirembe gyonna, |
| 8 |
| era siriganya kigere kya Yisirayeli kuddamu kuleka nsi gye nassizaawo bajjajjaabwe, singa balikwata byonna bye nabayigiriza ebikwata ku mateeka, ebiragiro n'ennamula bye nawa nga mpita mu Musa.” |
| 9 |
| Naye Manasse yawubisa Yuda n'abantu b'omu Yeruzaalemu ne boonoona n'okusinga amawanga Omukama ge yazikiriza mu maaso g'Abayisirayeli. |
| 10 |
| Omukama yakoma ku Manasse n'abantu be naye tebaawuliriza. |
| 11 |
| Kyeyava abayimbulirako abagabe b'eggye lya kabaka wa Assuri; baawamba Manasse n'amalobo, ne bamusiba enjegere z'ekikomo, ne bamutwala e Babiloni. |
| 12 |
| Bwe yali mu buyinike, yeeyuna ekisa ky'Omukama Katonda we, ne yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe. |
| 13 |
| Bwe yasaba ew'Omukama, Omukama n'awulira okuwanjaga kwe, n'amuzza e Yeruzaalemu mu bwakabaka bwe; Manasse n'ategeera nti Omukama ye Katonda. |
| 14 |
| Oluvannyuma yazimba bbugwe ow'ebweru w'Ekibuga kya Dawudi, ebugwanjuba bw'akagga Gikoni mu kiwonvu, okutuukira ddala ku Mulyango gw'Ebyennyanja; yamwetoolooza akasozi Ofeli era n'amwongerako nnyo obugulumivu. Yassa abagabe b'eggye mu bibuga bya Yuda byonna okuli ebigo. |
| 15 |
| Yaggyawo balubaale abagwira, n'aggya mu Kiggwa kya Katonda ekifaananyi kya lubaale, n'emyaliiro gye yali akoze ku lusozi lw'Ekiggwa ne mu Yeruzaalemu, byonna n'abisuula ebweru w'ekibuga. |
| 16 |
| Yazzaawo omwaliiro gw'Omukama n'atambirirako ebitambiro eby'okussa ekimu n'eby'okwebaza, n'alagira Yuda aweerezenga Omukama, Katonda wa Yisirayeli. |
| 17 |
| Naye abantu baayongera okutambiriranga ku bifo ebigulumivu, kyokka nga batambirirayo Mukama Katonda waabwe. |
| 18 |
| Ebirala mu bifaayo bya Manasse, n'essaala ye ewa Katonda we, n'ebigambo abalabi bye baamugambanga mu linnya ly'Omukama, Katonda wa Yisirayeli, byawandiikibwa mu kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yisirayeli. |
| 19 |
| Essaala ye n'okuwulirwa, ebibi bye byonna, okwonooneka kwe, ebifo mwe yazimba ebifo ebigulumivu ne mwe yasimba empagi za Asera n'ebifaananyi bya balubaale nga tannaba kwenenya, byawandiikibwa mu bitabo bya Kozayi. |
| 20 |
| Manasse n'agalamira ne bajjajjaabe, ne bamuziika mu lubiri lwe. Mutabani we Amoni n'amusikira ku bwakabaka. |
| 21 |
| Amoni yafuuka kabaka nga wa myaka amakumi abiri mu ebiri; yafugira emyaka ebiri mu Yeruzaalemu. |
| 22 |
| Naye yakola ekibi mu maaso g'Omukama nga kitaawe Manasse bwe yakola. Amoni yaweereza n'okutambirira ebifaananyi bya balubaale byonna Manasse bye yali aweereza. |
| 23 |
| Naye teyeetoowaliza Mukama nga kitaawe bwe yakola; Amoni yayongera bwongezi bunene bwa musango gwe. |
| 24 |
| Abakungu ba Amoni ne bamwekobera, ne bamuttira mu lubiri lwe. |
| 25 |
| Bannansi ne batta bonna abeekobera kabaka Amoni; mu kifo kye ne bassaawo Yosiya mutabani we amusikire. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/2chronicles/033.mp3
36
33