Kabaka w'e Misiri n'afuula Eriyakimu muganda we kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi, n'awaanyisa erinnya lye n'alifuula Yekoyakimu. Neeko n'atwala Yekoyakaazi muganda we n'amutwala e Misiri.
Yekoyakimu yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerumalemi: n'akolanga ebyo ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebibi.
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyakimu n'emizizo gye gye yakolanga n'ebyo ebyalabika mu ye, laba, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda: Yekoyakini mutabani we n'amuddira mu bigere.
Era nate abakulu bonna aba bakabona n'abantu ne basobya nnyo okugobereranga emizizo gyonna egy'ab'amawanga; ne bagwagwawaza ennyumba ya Mukama gye yatukuza mu Yerusaalemi.
naye ne baduuliranga ababaka ba Katonda ne banyoomanga ebigambo bye ne basekereranga bannabbi be okutuusa obusungu bwa Mukama lwe bwabaawo eri abantu be, ne watabaawo kuwona.
Ne bookya ennyumba ya Katonda ne bamenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi, ne bookya omuliro amayumba gaamu gonna, ne bazikiriza ebintu byamu byonna ebirungi.
Bw'atyo bw'ayogera Kuulo kabaka w'e Buperusi nti Obwakabaka bwonna obw'omu nsi Mukama Katanda w'eggulu abumpadde; era ankuutidde okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda. Buli ali mu mmwe ku bantu be bonna, Mukama Katonda we abeere naye, ayambuke.