Awo Sulemaani n'alyoka akuŋŋaanya abakadde ba Isiraeri n'emitwe gyonna egy'ebika, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe ez'abaana ba Isiraeri, e Yerusaalemi, okulinnyisa essanduuko ey'endagaano ya Mukama okugiggya mu kibuga kya Dawudi, ye Sayuuni.
Awo bakabona ne bayingiza essanduuko ey'endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, awayimibwa okwogera mu nnyumba, mu kifo ekitukuvu ennyo, wansi w'ebiwawaatiro bya bakerubi.
Temwali kintu mu ssanduuko wabula ebipande byombi Musa bye yateeka omwo ku Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano n'abaana ba Isiraeri, we baava mu Misiri.
era n'Abaleevi abayimbi, bonna, Asafu, Kemani, Yedusuni, ne batabani baabwe ne baganda baabwe, nga bambadde bafuta ennungi, nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga, ne bayimirira ku nkomerero y'ekyoto ey'ebuvanjuba, era wamu nabo bakabona kikumi mu abiri nga bafuuwa amakondeere:)